HAJJI Musa Kavuma owa KT Events olumaze okuteeka Fire Baby ng’amba Winnie Nwaggie mu bire, ye n’akka wansi okunona Sheebah Karungi naye amutuuse ku ntikko.
Agava ku Pacific Bond e Najjanankumbi awali ofiisi za KT Events and Beyond gagamba nti Kavuma y’akutte mu kintu kya Sheebah Karungi ng’era amututte ku Serena Hotel mu Kampala gy’aba akikubira.

Sheebah nga yeegezaamu.
Owoolugambo waffe atugambye nti Kavuma yasibye dda omutima. Agenda kutegekera Sheebah abangi gwe bamanyi nga Queen Karma ebivvulu bibiri eby’abakungu bayite ‘abaakolamu’ ku nnaku ez’omuddiring’anwa bbiri mu kifo kye kimu.
Alutuwadde atugambye nti ekivvulu ekisooka kigenda kubeerayo ku Lwokutaano nga December 9, 2022 ate ekirala kibeereyo ku Lwomukaaga nga December 10, 2022 era ng’eteekateeka z’okutandika okutunda tiketi ziri mu ggiya.
Omanyi Sheebah amaze emyaka nga mukaaga nga y’omu ku bayimbi abasinga okukuba omuziki mu ggwanga nga kati kye kiseera ave mu kutwala abawagizi be mu bisooto by’e Lugogo abatuuzeeko ku Serena nga batambulira ku kiwempe ekimyufu alyoke abakube omuziki bakkirize kubanga agamba nti kati alina obukugu obubatuuza mu bifo by’abakungu n’okubasitula ng’endongo ebayingidde ne babiibyamu.
Mu June, Sheebah yateeka ekiwandiiko ku mikutu gye egya ‘Socia Media’ n’agamba: ‘‘2022 guno mwaka gwange, gw’emwaka Katonda gwe yansumululirako okuva mu kutya era ekivvulu kino kitegeeza bingi gyendi. Ng’enda kujaguza olugendo lwange, amaanyi gange mu kuyimba, obugumiikiriza n’okukuba omuziki nga siddirira. Era ng’enda kujaguza olw’obuwagizi bwa ba faani bange abanjagadde ennyo obwenkanidde awo’’.
Bwe twakubidde Kavuma okumubuuza ku by’okutegeka ebivvulu bibiri mu kifo kye kimu ku nnaku ez’omuddiring’anwa yagambye: ‘Ssebo, mu by’okutegeka ebivvulu ndi kafulu ate ndi muvumbuzi, mwe mbasaba kimu kyokka: Mutegeke ssente zammwe musirike ebisigadde mubindekere’.
Sheebah Karungi alina ennyimba nga: Nkwatako, Nakyuka, Empeta, Wankona, Nninda, Binkolera, Twesana, Nkwata bulungi, Onkutudde, Try my love, By the way, Boy Fire, Empiki n’endala nnyingi.