Kasalabecca

KT ayongedde obubadi mu kivvulu kya ‘Fire Baby’ Winnie Nwagi

EBULA ennaku 9 zokka omuliro gwake ku kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo. Mwana muwala Winnie Nakanwagi abadde yeeyita ‘Winnie Nwaggie’ nga kati baamukazizzaako lya ‘Fire Baby’ yateekateeka okuleeta ensasagge y’omuziki mu kivvulu kye ekituumiddwa ‘Winnie Nwaggie Fire Concert’.

KT ayongedde obubadi mu kivvulu kya ‘Fire Baby’ Winnie Nwagi
By: Emmanuel SSebanenya, Journalists @New Vision

Nga tannaba kusitula kugenda Califonia mu Amerika gye yagenze okukubira abaayo omuziki n’okugula obuwero bw’aneesala nga September 9, 2022, yasabye abantu okutandika okwawula ssente ze ‘ez’ekivvulu’ mu z’enva beesirikire ebisigadde babimulekere.

 Nwagi ng'annyonnyola.

Nwagi ng'annyonnyola.

Ekivvulu bakyongeddemu obubadi

MANEJA Musa Kavuma owa KT Events and Beyond ng’ali wamu n’aba Swagz avenue nga bayambibwako aba Vision Group efulumya ne Bukedde wamu ne Jude Color Solutions batadde obubadi mu kivvulu kino okulaba nga kituukaana n’aky’abayimbi b’ensi yonna.

Kavuma yategeezezza nti abakungu babategekedde ekifo kye yayise ‘Fire’ omuli eby’okunywa, ebyokulya, ow’omukwano paakingi, okuyingira mu kivvulu awatali nsindikagano, laavu ssaaviisi ne kye baayise VVIP Celebrity Boy Friends Section.

Kyokka agamba nti n’abantu abalala abanaayingira mu kivvulu kino baakufuna essanyu kubanga bagenda kuweebwa ebirabo okuva mu Jude Color Solutions. Okuyingira osasula: 20,000/-, abakungu 80,000/- ne 100,000/- asasulidde ku mulyango ate emmeeza y’abantu 8 osasula 2, 500,000/-. 

Kavuma yayongeddeko nti Fire Baby yeetegese okubawa essanyu ng’akuba ennyimba ze zonna okuviira ddala ku nkadde okutuuka ku mpya eziriko kati n’okubasabulira obuwero obuliko kubanga si muntu waakwesaaniika. 

Oluva e Lugogo alumba Agip Motel e Mbarara ate ku Ssande abeere ku Maria Flo e Masaka. Tiketi zaatandise dda okutundikwa ku dduuka lya Jude Color Solutions ne ku ofiisi za KT Events e Najjanankumbi.

 

 

Tags:
Kasalabecca