Eyazinanga ne ba Ghetto kids akoze ennyimba n'abayimbi abaakabi n'awaga

WOOSOMERA bino nga musaayimuto Fresh Isaac amannya ge amatuufu ye Isaac Tumusiime ekirooto kye mu kuyimba n’amazina bituukirirdde. Alaze abaamusooka mu kisaawe ky’okuyimba amaanyi kati ayimbira Bazungu, ennyimba azikwatira mu Amerika era gy’akolera.

Eyazinanga ne ba Ghetto kids akoze ennyimba n'abayimbi abaakabi n'awaga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
WOOSOMERA bino nga musaayimuto Fresh Isaac amannya ge amatuufu ye Isaac Tumusiime ekirooto kye mu kuyimba n’amazina bituukirirdde.
 
Alaze abaamusooka mu kisaawe ky’okuyimba amaanyi kati ayimbira Bazungu, ennyimba azikwatira mu Amerika era gy’akolera.
Mbi 2(7)

Mbi 2(7)

 
Ekitone kye kyatandika okulaba ekitangaala emyaka musanvu egiyise ng’azina mu video za Eddy Kenzo mu baana ba ghetto kids. Okuva lwe yazirabikiramu, obulamu bwakyuka era taddanga mabega.
 
Kati emiziki agikubira ku mutendera gwa nsi yonna oluyimba lwe yakasembayo okukwata, mu sityudiyo baabaddemu; ye, French Montana ne Wiz Khalifa . Kati amaanyi n’ettutumu by’eyongedde era akwataganye ne bannayuganda banne nga ManKing.
Mbi 9(1)

Mbi 9(1)

 
Ebimukwatako ebitonotono:
Yazaalibwa February 2, 1999 e Ntebe, Uganda wabula yajja ku maapu mu 2014 ng’ali mu Ghetto Kids bwe baazina mu luyimba Osobola. Awo weyava okulabirika mu vidiyo ya sitya loss olwa Eddy Kenzo olwalwatayo ku mutendera gw’ensi yonna ne luwangula n’engule mu BET awards.
Kati muzinyi, muyimbi era muwandiisi wa nnyimba ng’amaanyi agatadde ku Afro pop, rap ne Dancehall.
Ennyimba zeyaakakola kuliko; Do me, Baby girl, Pumping, My Mind, Can never let you go n’endala.