Kasalabecca

MC Maswanku,Katayira wa Bukedde akikubye mu 'Kisindogoma'

ABADIGIZE balaze MC Maswanku, Katayira wa Bukedde omukwano bwe beeyiye mu Kisindogoma kya MC. Kyabaddewo ku Lwomukaaga ku Xavi Pataya PTC Bujuuko.

MC Maswanku,Katayira wa Bukedde akikubye mu 'Kisindogoma'
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

ABADIGIZE balaze MC Maswanku, Katayira wa Bukedde omukwano bwe beeyiye mu Kisindogoma kya MC. Kyabaddewo ku Lwomukaaga ku Xavi Pataya PTC Bujuuko.

Maswanku ng'asanyusa abawagizi be.

Maswanku ng'asanyusa abawagizi be.

Waabaddewo okuwangula boda boda okuva mu ba Dura Motors mu Ndeeba era Alex Kalema ow’e Bulenga ye yagiwangudde.

Mu mbeera y’agaba aweebwa, abamu ku bavujjirizi b’ekivvulu kino okuli Bassali Property Consultants, baawadde Maswanku ekirabo kya poloti nga bamwebaza okuweereza abantu.

Maswanku yawerekeddwaako Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny, Crystal Panda, MC Mariachi, MC Bukutu, Sharif Lukenge ne Omugagga Ssendegeya, Jackie Nabwami, Racheal Namiiro n’abalala bangi. Maswanku yeebazizza abawagizi abazze mu kivvulu.

Tags:
MC Maswanku
Katayira
Bukedde
Kidongo
Kusindogoma