EYALI omugagga Emmanuel Lwasa asiramuse n’afuuka Acram. Shahadah yagitooledde ku muzikiti e Kibuli ku Lwokutaano oluwedde.
Yasoose kutegekebwa mu bintu eby’enjawulo ebikwatagana ku Busiraamu era ne bamutwala ne mu ofiisi ya Supreme Mufti.
Yategeezezza nga bw’ayagala okufuna haki empya. Era yagambye nti ekimu ku by’ayagala
okusookerako okukola kwe kuyamba okuddaabiriza ofiisi ya District Khadi wa Kampala ng’ateekamu entebe n’emmeeza empya.