ABANTU b’oku Kaleerwe, Mulago ne Kyebando bakooye okwekubagiza. Bafunye ekifo ekisanyukirwamu ne babasaba obutakikozesa nga mpuku ya bumenyi bw’amateeka.
Ekifo kino kyateekeddwaawo Said Waisswa akulira akatale ka Freedom nga kyatuumiddwa Freedom Arena Hall ng’omukolo gwetabiddwako abakulembeze b’obutale obwenjawulo ku kaleerwe n’abakulira Lufula, okwabadde Sulaiman Busulwa, ssentebe wa kibe Zooni, Sulaiman Kigongo ne bannannyini butale ku Kaleerwe.
Abayimbi abenjawulo okwabadde Charles Katongole amanyiddwa nga Stranger Man, bakazannyirizi MC Abiriga ne MC Nsomba byuma be baasanyusizza abantu.