DICTATOR Amir yandiba ng’obulamu bumutambulira nga bwe yabubala bukya ayawukana n’omuyimbi Chosen Becky.
Omwaka guno, eyali muninkini we Chosen Becky yagenda n’omusajja omulala eyamussaako akaweta ka ‘nkusibidde awo’ era bapepeya bombi.
Agaliwo galaga nga ne Dictator Amir, bwe yeeyiyeemu enzirusi ekika kya Harrier n’awona okukuuta enfudu.
Waliwo ababitebya nti eno ye mmotoka gy’asoose okugula ne essente ze mbu era ekirabo ky’emmere kye yakola, kifuna ekiralu. Amir abadde yaakava Mecca okukola Umra, yeebaziza Allah ayanukudde essaala ze.