RAJIV Ruparelia, yafiira mu kabenje ka mmotoka nga yali mutabani wa nnaggagga Sudhir Ruparelia.
Yagenda okufa ng’ayambye bannabitone abawera era mu ngeri y’okumujjukira, bamuyimbyemu akayimba ke batuumye ‘See you Again’. 
Mu luyimba luno, boogera ku birungi omugenzi bye yakolera eggwanga. 
Era mu luyimba lwe lumu, beebaza omugenzi ne ffamire ye okubeera abasaale mu kuyamba n’okulaakulanya eggwanga.
Oluyimba Lwakoleddwa polodyusa Washington ne luyimbibwa Kataleya and Kandle, Fresh Kid, Pasita Bugembe, Nandor Love, Felista de Suparstar, Niki Nola n’abalala.