BAD BLACK ng’amannya ge amatuufu ye Shanitah Namuyimbwa embaga ye agitaddewo ku lunaku lw’abaagalana.
Okusinziira ku Brian Ahumuza amanyiddwa nga Abryanz ssentebe w’omukolo gwa Bad Black, baakusooka kukola kwanjula omwaka guno nga December 30, embaga ebeeyo omwaka ogujja ku lunaku lw’abaagalana nga February 14.
Abryanz yategeezezza nti okwawukanako ku kwanjula okugenda okubeera e Uganda era bakkirizeeko abantu abawerako, embaga tejja kubeera mu ggwanga muno era abantu batono ddala abagenda okugyetabako.
Yagambye nti embaga esuubirwa okusaasaanyizibwako ssente ezikunukkiriza mu kawumbi kuba baagala okukolera Bad Black omukolo oguli ku ddaala ly’ensi yonna.
Abryanz era yatubuuliddeko ku bamu ku bantu abaasonze ssente nga batongoza omukolo gwa Bad Black okuli; Kasiko Mutaasa eyabawadde obukadde butaano, Ameria Nambala obukadde bubiri, Urban Ratibu akakadde kamu, Big Deal Musiiya obukadde bubiri n’abalala.
Bad Black yali yategeeza nti agenda kutegeka olukiiko lumu lwokka abaagala okumusondera ku ssente mwe banaamuweera ssente nga luno luwadde.
Wabula Abryanz agamba nti baamuwabudde, bategekeyo olukiiko olulala kubanga waliwo abantu abaamutuukiridde nga tebaasobodde kubaawo mu lukiiko oluwedde era Bad Black n’akkiriza. Kati banoonya lunaku lwe banaategeka olukiiko olulala.
Yagambye nti mu lukiiko olwasoose baasonze obukadde 80 okuva ku 65 bwe baasooka okulangira kuba waliwo abalala abaabongedde ssente nga bavuddewo.