Big Eye yeefukuludde...Asaze eddiiro ne yeegatta ku NUP

OMUYIMBI Big Eye yeefukuludde. Oba akooye kumukuba bucupa, awo naffe tetwamutegedde.

Big Eye yeefukuludde...Asaze eddiiro ne yeegatta ku NUP
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Big Eye #NRM #NUP #Bobi Wine

OMUYIMBI Big Eye yeefukuludde. Oba akooye kumukuba bucupa, awo naffe tetwamutegedde.

Ayabulidde NRM bulijjo gy’ayimbira n’ategeeza nti y’essaawa akolagane n’abantu. Omukulu ono, kati n’abamupangisa okubayimbira mu bivvulu wano mu Uganda n’ebweru beeyongedde.

Mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe yakubye eggulo ku wooteeri ya Impala e Munyonyo, yategeezezza nti amaze ebbanga nga yeegayirira n’okulinda aba NRM bye baamusuubiza naye agenze okulaba nga byali byoya bya nswa naye kwe kusalawo abaveemu.

Bwe yabuuziddwa nti oba kino akikoze kwewala bawagizi kumukuba bucupa ng’ayimba mu bivvulu yazzeemu nti;

“Eky’okunkuba obucupa tekikwatagana na byabufuzi. Bulijjo abankuba obucupa bamanyiddwa era abamu bayimbi bannange ekitegeeza nti essaawa yonna bakyasobola okuddamu okubunkuba.”