Big Eye alabudde Alien Skin: 'Komya okukozesa erinnya lyange mu bigambo ebinyooma Bobi Wine'

Omuyimbi Alien Skin alabudde Big Eye okwewala okukozesa erinnya lye nga alumba Bobi Wine.

Big Eye alabudde Alien Skin: 'Komya okukozesa erinnya lyange mu bigambo ebinyooma Bobi Wine'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Big Eye #Bobi Wine #Alien Skin #NUP

Omuyimbi Alien Skin alabudde Big Eye okwewala okukozesa erinnya lye nga alumba Bobi Wine.

Big Eye agamba nti akooye aba NUP okumulumbanga mu lujjudde nga musajja wattu oluusi tamanyi kwe kiva. Ategeezezza nti olwaleero si mwetegefu kuddamu kuyita mu mbeera eyo.

Akubiriza Alien Skin okussa essira ku muziki gwe n’okulekera awo okukozesa amannya g’abantu okulwana entalo ze.

"Saagala kuddamu kuvumibwa bantu mu lujjudde. Bannumba nnyo n'okunvuma, n'olwekyo njagala okulabula muganda wange Alien okulekera awo okukozesa erinnya lyange mu bigambo ebinyooma Bobi Wine," bw'atyo Big Eye bwe yategeezezza mu mboozi ey'akafubo ku ttivvi emu.