Abanaagenda e Buloba mu bikujjuko bya Easter baakwewangulira olugendo e Dubai

SIMO Omunene aleese ekigenda okuyisa abantu mu bikujjuko by’amazuukira ga Yesu Kristo

Abanaagenda e Buloba mu bikujjuko bya Easter baakwewangulira olugendo e Dubai
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Dubai #Lugendo

Simo omunene w'omu Kibuga, amannya ge amazaale nga ye Maseruka owa Bukedde Fa Ma, ategese ekivvulu ku Easter Monday kye yatuumye Easter Carnival nga kyakubera ku Forest Park e Buloba.  

Simo Omunene Ng'alaga Engeri Gye Bagenda Okunyoolamu Ekyuma Okufuna Abawanguzi Ab'okugenda E Dubai.

Simo Omunene Ng'alaga Engeri Gye Bagenda Okunyoolamu Ekyuma Okufuna Abawanguzi Ab'okugenda E Dubai.

Yagambye nti kino, okwawukanako n’ebivvulu ebizze bibaawo, abanaakigendamu buli omu agenda kubeera n’omukisa okutwalibwa e Dubai ku bwereere awummuze ku birowoozo ate akomezebwewo. 

Omuntu yenna anaagula tiketi eziri ku 10,000/- ne 20,000/- VIP alina okukuuma akakonge ke banaaba bamuwadde ku mulyango.

Ekivvulu bwe kinaaba kinyiinyiitidde, wajja kubaawo akadde k’okunyoola ekyuma omunaaba muteereddwa obukonge obwo olwo balangirire abo abanaaba bafunye omukisa okugenda e Dubai. 

Simo yategeezezza nti kino akikoze okuddiza ku bantu abanaaba bazze okumuwagira n’abo ababaddenga bajja mu bivvulu by’abadde ategeka.  Abayimbi okuli Sheebah, Madoxx, B2C, Pr. Bugembe, Big eye, Kataleya and Kandle be bagenda okusanyusa abantu.  EkivVulu kino kiwagiddwa Bukedde.