OMUVUBUKA Brian Kirumira eyeeyita Bryan White era eyasaasaanyanga ennyo ssente mu Uganda, atabukidde Kasuku (Isaac Katende) lwa kwogera ye by’ayise kalebule.
Kasuku bwe yabadde ku mukutu ogumu, yategeezezza nga Bryan White bwe yalina enkolagana ey’enjawulo ne Zari Hassan nga yakiggya ku ngeri gye yamuyitangamu amannya g’omukwano.
Bino olwagudde ku Bryan White naye n’agenda ku mutimbagano n’amutabukira nti bw’aba amwogerako nga ye omuntu, takirinaako buzibu naye bw’abiyingizaamu abalala, ajja kumwambalira.
Era yamusabye okukomya ebiboozibozi n’amuwa amagezi obudde bwe abumalire mu kunoonya ssente abuggye mu mboozi ezitazimba.