Poliisi y'e Katwe eyise Alien Skin ku by'okukuba mukazi we

POLIISI y’e Katwe mu Kampala, eyise omuyimbi Patrick Mulwana (Alien Skin) abitebye ku bigambibwa nti, akuba mukyala we nga n’obuyambi bw’abaana tamuwa. 

Poliisi y'e Katwe eyise Alien Skin ku by'okukuba mukazi we
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Alien Skin #Namusoke #Maka #Kuyimba #Muyimbi #Kutulugunya

POLIISI y’e Katwe mu Kampala, eyise omuyimbi Patrick Mulwana (Alien Skin) abitebye ku bigambibwa nti, akuba mukyala we nga n’obuyambi bw’abaana tamuwa. 

Namusoke Alumiriza Alien Skin Okumutulugunya

Namusoke Alumiriza Alien Skin Okumutulugunya

Luke Owoyesigire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano agamba nti, poliisi enoonya Alien Skin oluvannyuma lwa Aisha Namusoke okuggulawo fayiro ku Alien Skin ku misango egyo.

Namusoke agamba nti, amaze ne Alien Skin emyaka egiwera mwe bazaalidde abaana 3 nti kyokka okuva lwe yamanyika, empisa ze zaakyuka era amutulugunya nga tamuwa buyambi bw’abaana. 

Wabula Eric Nsubuga, muganda wa Alien Skin era akola nga omuyambi we, ebyogerwa ku muntu we abiwakanya nti, era waliwo apika Namusoke okwonoona erinnya lya Alien Skin.