Alien Skin talabiseeko e Dubai gye baamulinze ne yeekwasa ennyonyi okumubuza

OMUYIMBI Alien Skin eyabadde ow’okuyimba mu kibuga Dubai gye buvuddeko, ennyonyi yamulese n’ateeka pulomoota eyabadde amututte mu kattu.

Alien Skin talabiseeko e Dubai gye baamulinze ne yeekwasa ennyonyi okumubuza
NewVision Reporter
@NewVision
#Alien Skin #Malawi #Dubai

OMUYIMBI Alien Skin eyabadde ow’okuyimba mu kibuga Dubai gye buvuddeko, ennyonyi yamulese n’ateeka pulomoota eyabadde amututte mu kattu.

 Waliwo abatambuza ag’omu nkuubo mbu pulomoota Deejay Rham eyabadde amutegese, yagudde n’ekigwo n’abeera ng’azirise bwe yawulidde nti takyazze kyokka ng’ekivvulu yabadde akiyiyeemu omusimbi omuyitirivu ng’asuubira okubeerawo kwa Alien Skin, abadigize baakubeerayo bakijjuze. 

Kigambibwa nti Alien, yatuuka kikeerezi ku kisaawe e Ntebe n’asanga ng’ennyonyi esimbudde ne bagazeeko okufuna endala eneemutwala ne birema. Kyokka ye Alien mu nneewozaako ye, yagambye nti ennyonyi gye yalinnye yamusudde mu ggwanga lya Malawi mu kifo ky’e Dubai.

Login to begin your journey to our premium content