OMUYIMBI Alien Skin bwe yakubwa emizibu ne mmotoka ye n’eyonoonebwa e Iganga, yasalawo n’addukira e Kenya gy’amaze akabanga ng’awummuddemu n’okukyala ku mikutu gy’amawulire egimu ng’abatabbiramu.
Ekyewuunyisizza abawagizi be, kwe kukomawo e Uganda mu kasirise. Abamuwagira mu ‘ggaali’ ye, bagamba nti bwe yali agenda e Kenya, baamuwerekerako ku ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe era beewuunya obutabagambako ng’akomawo.
Bwe yakomyewo, yagenzeeko ku bbiici ne mikwano gye emitono omwabadde eyamukubye ekifaananyi ne kisaasaana ku mutimbagano n’abawagizi abalala ne babiraba.