Ab'e Kawaala basaze embwa 'enseke' mbu zikome okuzaala

ABATUUZE b’e Kasubi - Kawaala beekyaye, olw’embwa ezisusse okuzaala mu kitundu kyabwe.

Ab'e Kawaala basaze embwa 'enseke' mbu zikome okuzaala
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Mbwa #Bisolo #Kuzaala #Kawaala

ABATUUZE b’e Kasubi - Kawaala beekyaye, olw’embwa ezisusse okuzaala mu kitundu kyabwe. Kino kibatanudde ne baleeta abasawo abakugu okuva ku yunivasite e Makerere ne basala embwa zino enseke zikome okuzaala.

. Baakubye olusiisira lulamba olwabadde ku Kkanisa ya St. Peters e Kawaala era abatuuze baalese embwa zaabwe mu bungi okuzikolako okwabadde n’okuzigema obulwadde bw’embwa.

 

 Dokita Arnold Lubega, omu ku basawo abaakuliddemu enteekateeka eno yagambye nti baalongoosezza embwa ezisoba mu 50. 

Brian Trust Ssenkungu, omu ku bakulembeze eyakuliddemu enteekateeka eno yannyonnyodde nti, omuwendo gw’embwa mu kitundu kyabwe gususse ate nga ziruma abantu n’okulya ebisolo by’abantu kwe kusalawo okukwatagana n’abasawo abakugu okuzisala enseke zireme kuddamu kuzaala n’obungi bwazo bukendeereko mu kitundu.