POLIISi ekutte abaserikale baayo mwenda n’ebaggalira mu kaduukulu nga bavunaanibwa okubba ezimu ku ssente obukadde 192 ze baasuuza ababbi e Naalya wiiki ewedde.
Abaakwatiddwa kuliko ddereeva wa kabangali ya poliisi, Julius Womala, ng’ono baamusanze n’obukadde 10, Jackline Maniragaba, Yunus Tusiime, Juliet Atiti, Manjeri Namukuma, Opio, n’abalala.
Bano kigambibwa nti babbye bukadde 32, ku ezo obukadde 192, ezaabadde zinunuddwa okuva ku babbi be baakwatira e Naalya. Ssente zino zabbibwa ku bakozi b’edduuka eritunda ebizimbisibwa erya Give and Take Hardware e Bulenga ku luguudo lw’e Mityana nga kigambibwa nti baali bazitwala mu bbanka emu e Lubaga, kyokka abasajja abaali bambaddeyunifoomu z’amagye ne babasalako ne basikambula Shaturah Namata mu loole era nga ye yalina ekisawo ekyalimu ssente, ne bamuteeka mu mmotoka ekika kya Noah ne bamuvuga nga bamuzza e Kiwanga - Mukono gye baamusuula.
Oluvannyuma Namata yatemya ku ba bodaboda abaalondoola mmotoka eno, nga beegattiddwaako kabangali ya poliisi ne babakwatira e Naalya ku luguudo lwa Northern Bypass.
Kigambibwa nti poliisi we yazuulidde ensawo omwabadde ssente zonna obukadde 192, zaabaddemu kyokka sitetimenti ze baakoledde ku poliisi ya Kira divizoni we bakolera zaalaze nti baasanzeemu obukadde 115 zokka. Oluvannyuma lw’okubakunya ne bakalambira, kigambibwa nti beetegerezza kkamera ezassibwa mu ofiisi za Kira Road we baatuusirizza ekisawo ekyabaddemu ssente era nga zino ze baabaloopye bwe zaalaze abaserikale bano nga batoola ku ssente zino.
Akatambi kano bwe kaalagiddwa abaserikale, abaabadde basoose okwegaana, ne bakkiriza nti kituufu baliko ssente ze baabadde babbye era ne bakkiriza okuzizza. Wabula ku bukadde 32, ezaabadde zibbiddwa, baakomezzaawo obukadde 22, obulala 10 tezirabikako.
Amyuka omwogezi wa poliisi owa Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti ensonga y’abaserikale abaakwattiddwa yaakulolwako ekitongole kyabwe ekikwasisa empisa.