Oluvannyuma lw’okukkirizibwa okuddamu okukola nga bavudde mu mbeera ya COVID-19, abasinga babadde mu kulwana okulaba nga badda engulu wamu n’okukomyawo abawagizi baabwe.
Bannakatemba ba The Ebonies bbo omwaka bagumaliddeko mu sitayiro. Bajjudde omuzannyo gwabwe omupya ‘Bombastic Ekimala kimala’ mwe bayise okwongera okubudaabuda, okusomesa wamu n’okusanyusa abawagizi babwe okwongera okubamalako ennaku ya Covid-19.
Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa agamba nti Theater n’ebivvulu okuva lwe byaggulwa ku ntandikwa y’omwaka guno babadde balwana kuzza bawagizi kyokka basanze nga bangi embeera yabatabukako, tebakyalina ssuubi mu bulamu ekivuddeko n’ebikolwa nga obutabanguko mu maka n’emizze emirala emibi okweyongera.
Agamba wano we basinzidde okuvaayo n’omuzanno gwabwe guno omupya mwe bayise okusanyusa abantu nga bwe babasom