Klopp asusse ebyekwaso - Roy Keane

Eyali kapiteeni wa ManU, Roy Keane alumbye Jurgen Klopp nti ayitirizza okwekwasa obusongasonga buli Liverpool lw’eddirira omutindo.

Klopp asusse ebyekwaso - Roy Keane
NewVision Reporter
@NewVision

Kino kiddiridde Man City okulumba Liverpool ku Anfield n’egiwuttulirayo ggoolo 4-1, Klopp n’awolereza ggoolokipa Alisson Becker nti yasannyaladde ebigere.

Alisson yagabudde Man City ggoolo bbiri ng’asambira abazannyi baayo emipiira, Klopp n’amuwolereza nti kyavudde ku kusannyalala bigere.

“Liverpool si bakyampiyoni balungi. Buli kiseera bawa obusongasonga mu kifo ky’okusitula omutindo ogugudde. Bwe baawangula Premier sizoni ewedde baalowooza nti bali mu ggulu mu kifo ky’okukolerera okusigala ku mutindo badda mu kulya bulamu,” Keane akola ku ttivvi ya Sky bwe yakomeredde.

Yagambye nti singa Klopp ne Liverpool yonna tebazuukuka, bajja kuddamu bamale emyaka 30 nga tebawangula Premier. Liverpool erina obubonero 40 ate Man City ekulembedde na 50 kyokka ng’ebanjaayo omupiira.

Login to begin your journey to our premium content