ROY Keane, eyali kapiteeni wa ManU ate nga kati y’omu ku bakubaganya ebirowoozo ku mupiira ku ttivvi ya Sky, alumbye Sergio Aguero olwa kye yayise obutafa ku mubiri gwe n’azitowa nga endoddo.
Yagambye nti omuteebi wa Man City ono okulwalalwala takyewuunya kuba yamulabye mu kisaawe ng’omugejjo gumuyitiridde.
Aguero yalwala ekinywa ky’ekisambi bwe baali balemagana 1-1 ne West Ham era nga yasubiddwa omupiira gwe baagudde amaliri (1-1) ne Liverpool ku wiikendi.
“Omuzannyi pulofeesono ayinza atya okugejja bwatyo! Teyeefaako ky’ava afuna obuvune obutasalako lwa mugejjo,” Keane bwe yategeezezza