Garry Neville akooneddemu Solskjaer

Abawagizi ba ManU abatali bamativu na mutendesi Ole Gunnar Solskjaer banyiivu olwa Gary Neville okwongera okumukuutira akadingidi nti ttiimu agikutte bulungi era mu bwangu nnyo ajja kugiwangulira ekikopo.

Garry Neville akooneddemu Solskjaer
NewVision Reporter
@NewVision

Chelsea 0-0 ManU

Kino kyaddiridde ManU okulumba Chelsea ku ‘Lutindo’ ne balemagana 0-0 mu Premier ku Ssande, Neville n’ategeeza nti okufuna amaliri ku ttiimu ennene kiraga nti Solskjaer ensonga azitambuza bulungi.

“Mmulaba ng’ayinza okuwangulira mangu ManU ekikopo kya Premier okusinga bwe gwali ku Mourinho,” Neville eyazannyanga ne Solskjaer mu gy’e 90 ne 2000 bwe yategeezezza ttivvi ya Sky.

Wabula eyali kapiteeni waabwe, Roy Keane teyakkaanyizza naye bwe yagambye nti ManU ntiitiizi ate esumagiza. “ManU yali temanyiddwa mu kuzannya kipiirapiira kyebasa. Eya kaakati n’omutendesi mbalaba nga basanyukira amaliri ku ttiimu ennene, ekitaaliwo ku mulembe gwaffe,” Keane bwe yayogedde mu busungu.

ManU yasigadde mu kyakubiri ku bubonero 50 sso nga Man City ekulembedde erina 62 mu mipiira 26.

Login to begin your journey to our premium content