OMUSUMBA w'e Ssaza ly'e Masaka Rt Rev Serverus Jjumba ng'ayigiriza abeetabye mu kitambiro kya Mmisa y"amazuukira awabudde abakulembeze beggyemu okwemanya era bekakkanye nga bakkaanya ku nsonga ze bafunyemu obutakkaanya.
Obubaka buno abuweeredde mu lutikko e Kitovu nga Mmisa yetabiddwamu Abakristu bangi abakuliddwa Pookino Jude Muleke abaagumidde ekire ky'enkuba eyakedde okutonnya.

Okusaba kw'amazuukira
Omusumba Jjumba agambye nti abakulembeze okusikang'ana emiguwa bafiiriza abalonzi n'annokolayo endooliito eziri mu Masaka City b'awabudde buli omu atuukirize olubimbi lwe bajja okugasa abaabalonda.
obuzibu abutadde ku bawuzzi b'obunnyama b'agambye budde abawujja obunyama b'ayise amalindirizi agateeha okubaako bye gasuuza nti be bavaako entalo z'abakulembeze n'abasaba nabo bekomeko.