JJAJJA w'obusiraamu, Omulangira Khassim Nakibinge agugumbudde ssabalangira Godfrey Musanje ku ky'okuwangamya ba Nnaalinnya ab'ekimpatira mu masiro n'agamba nti kino alina okukikomya.
Nakibinge asinsidde mu kuggulawo amasiro ga ssekabaka Kamanya e Kasengejje mu disitulikiti ye Wakiso leero n'agamba nti obuyinza bw'okukyusa n'okutwala ba Nnaalinnya mu Masiro bikolebwa Ssabasajja Kabaka.
'
Ategeezezza nga ssabalangira Musanje bweyakola olukujjukujju n'atwala Nnaalinnya atamanyikiddwa mu masiro ga ssekabaka Kiweewa e Maanafu kyokka ng'omutuufu amanyiddwa ye Rehema Nalumansi."Ba nalinnya bebanannyini bibuga bino era kino njagala obuganda bukitegeere.

RDC ng'ayogera
Teri mulala alina buvunanyizibwa ku bibuga bino okusinga ba Nnaalinnya bannyini byo era teri asobola kugamba nti ayingidde mu kibuga okuggyako bbeene nga yakoze enyukakyuka."Nakibinge bweyayongeddeko.
Yakkatirizza nti bagenda kutunulira ensonga ye Masanafu okulaba nga nalinnya eyatwalibwayo ajjibwayo olwo nalinnya omutuufu abeere mukibuga kye kiyambe obutasika muguwa mubifo eby'ennono.
Yasabye buli muntu atambulire mu kkubo lye ssaako obuvunanyizibwa obwamuweebwa kiggyewo okukonagana ssaako n'okulaba ng'ebibuga by'amasiro bikuuma ebyafaayo, ennono ssaako okutumbula eby'obulambuzi mu Buganda.
Nakibinge era yagugumbudde ne bannalinnya abagufudde omuze okutunda ettaka ly'amasiro nga benonyeza eby'obugagga, n'agamba nti bano balina okukomya okuzannyira ku ttaka ly'amasiro kuba abaasokawo baalikuuma bulungi.
Agambye nti kumpi buli Masiro agalina ebizibu by'okusatukirako eri abagwanyizi, bagenda okukola okunonyereza nga ba Nnaalinnya bebali emabega waabyo byonna ekintu ekiwa ekifaanayi ekibi eri Buganda.
Yeebazizza nnyo Nnaalinnya w'amasiro Stella Ndagire Serwamutanda, Naava Kaana ne Ambasadda Joseph Ndawula olw'okukuliramu okuzimba amasiro gano mu myaka 5 gyokka nasomooza abakola emirimu egikandalirira ebbanga.
Ye ambasada wa Uganda e Namibia, Joseph Ndawula agambye nti oluvannyuma nga bamalirizza okutuula ne nalinnya Ndagire, ensonga z'okuddabiriza amasiro baazitwala ewa ssabasajja Kabaka era naye nasiima gazimbibwe ku mutindo.

Gilbert Bukenya ng'abuuza ku Mulangira Nakibinge
Ndawula yagambye nti baatandika okuzimba amasiro mu 2020 kyokka nga baatandika okugazimba muntalo ennyingi n'ebikono eri abo abaali bakilabye obulala era nti nebatandika okugazimba munkola ya twekisize.
"Twatandika amasiro gano kyokka nga nze ndi Namibia ate nga nalinnya ali Atalanta, kyokka Naava olw'okuba twamussa kumwanjo, tusobodde okuzimba ennyumba ez'enjawulo mu masiro ssaako bbugwe ow'amaanyi akyusizza ekifaananyi." Ndawula bweyayongeddeko.
Ye Rdc wa Wakiso, Justine Mbabazi yategezezza nti azze atuula munsonga z'amasiro ag'enjawulo nga bangi bekobaana nebanyaga ettaka lyago, era agamu ku ggo ng'akolagana ne Naava ssaako abalangira abamu, bagezezaako okulinunula.
Mbabazi yeyamye okusigala ng'akolagana ne Buganda, ssaako okulaba ng'ebifo eby'ennono byonna mu Wakiso biwebwa obukuumi obw'enjawulo okulaba nga teri baddamu kusatukirako.
Naava Kaana eyakuliddemu enteekateeka yategezezza nti oluvannyuma lw'okumaliriza amasiro gano, bagenda kuddako okuddabiriza amasiro ga ssekabaka Ssemakokilo agasangibwa e Kisimbiri mu Wakiso nti nga bafuna okulungamizibwa okuva eri ssabasajja