Abantu 3 bafiiridde mu kabenje ka bbaasi, akagudde ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale.
Akabenje, kabadde ku kyalo Bukinda mu disitulikiti y'e Rukiga, bbaasi ebadde eva e Rwanda okujja mu Uganda nnamba RAG 597K Isuzu eya kkampuni ya Trinity, bw'ekoze akabenje, basatu ne bafa ate abasaabaze abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro e Kabale nga bafunye ebisago.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka, Micheal Kananura, agambye nti abaafudde, kuliko turn man, kondakita n'omusaabaze omu.
Agasseeko nti okubuuliriza ku kivuddeko akabenje, kugenda mu maaso naye nga kirowoozebwa nti ddereeva abadde akooye.