POLIISI efulimizza amateeka amakakali abatageka ebivulu n'okusaba kw'ennaku enkulu byebalina okugoberera.
Bino Omwogezi wa poliisi mu gwanga ACP Rusoke Kituma abyogeredde mu lukungana lwa banamawuliire olutude ku kitebe Kya poliisi e Naguru.
Ebula enaku 10 okutuka ku lunaku lwa Ssekukulu nga abantu bagenda okutambula okugenda mu kyalo oba mukyalo okuda ekampala.
Rusoke akubirizza abantu abagenda okubeerako mu lirwana gwebaeera bategezezza ku ntambula zaabwe wabu;a sikuteeka buli kimu ku mutimbagano.
Asabye abooluganda okutegezza Poliisi bwebabeera bagenda okubeerako n'olukungana lwona olusobola okuvamu okulwangana. Ategezezza abantu nti tewali muntu yena akkirizibwa kugya muntu ku ttaka mu biseera bino nga kooti ziwumudde.
Akubirizza abategesi be bivulu okugoberera amateeka. Abasabye okuwandiikira ssabadumiizi wa poliisi, n'abatwala eby'okwerinda mu kitundu awagenda okubeera ekivulu.
Agamba nti bagenda kukwata omutegesi we bivulu yena atatukirize byasubiza bantu ne bonona ebintu nti bakukwatibwa. Asabye abategeka okusaba okukolana okusaba olukusa.
Akubirizza abantu okubeera abegederezza n'okutegezza poliisi bwebabeera balina byebekengedde.
Akubirizza aba paaka ya baasi ne takisi okubeera abantu ababeera bayingira paaka. Alabudde obutakuba simu za poliisi nga Bali mu kugezesa. Ku Kya Rev father eyakwatidwa Rusoke agamba nti yakwatidwa basirikale ba magye ga UPDF. Asabye abantu obutekengera basirikale ba Poliisi mu buli nsonda ya kibuga mu gwanga.