Amawulire

Bukedde agenda Kyengera ku Lwokutaano

ENTEEKATEEKA za Bukedde Famire ez’okutuuka ku bakasitoma baayo zikomyewo mu maanyi. Ku mulundi guno baakutandikira Kyengera n’ebitundu ebiriraanyewo ku Lwokutaano nga July 12, 2024.

Omukazi ng’abigulira Maswanku owa Bukedde Fa Ma (ku ddyo). Baali Mukono gye buvuddeko.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENTEEKATEEKA za Bukedde Famire ez’okutuuka ku bakasitoma baayo zikomyewo mu maanyi. Ku mulundi guno baakutandikira Kyengera n’ebitundu ebiriraanyewo ku Lwokutaano nga July 12, 2024.
Bukedde ezze etuuka ku bakasitoma baayo mu bitundu eby’enjawulo okuli Nansana, Mpigi, Mukono n’awalala ng’omulundi guno amakanda baakugasimba ku katale ka Nabaziza we bagenda okusisinkanira abantu okubawa omukisa okwogera ebizibu ebibanyiga olwo be kikwatako babitegeere, ate akawungeezi basambe n’okubaka omupiira n’abantu b’e Kyengera ku kisaawe kya Summit.
Okukyala kwa Bukedde e Kyengera kugenda kubeera ku mulamwa gwa kussa ssira ku bizibu by’abasuubuzi ssaako enguudo embi n’ebirala nga bwe banaaba babimenye.
Dora Naamala, omu ku bakitunzi ba Bukedde TV, yannyonnyodde nti kw’olwo pulogulaamu za Bukedde zonna zigenda kukolebwa layivu okusinziira e Kyengera.
Era ttiimu yonna eya Bukedde okuli abaweereza ba pulogulaamu ez’enjawulo, abasomi b’amawulire, ba VJ, ba DJ bonna nga bakulembeddwaamu Ssuuna Ben ow’ebinyaanyanyaanya ne DJ Shiru abantu baakuboota buliro n’okufuna akadde okunyumyamu nabo.
Bukedde ewerekeddwaako ekitongole kya NIRA ng’abantu baakufuna omukisa okugonjoola ebizibu byabwe ebya densite, ekitongole kya Uganda Blood Transfusion ng’abantu baakwenyigira mu kugaba omusaayi okusobola okukendeeza ku bbula lyagwo mu malwaliro.
Enteekateeka eno ewagiddwa Newmans abakola obumpwankimpwanki, amazzi ga Uzima ssaako bbanka ya Centenary nga bano nabo baakutuusa ku bantu abanajja empeereza zaabwe.
Ssentebe w’abasuubuzi mu katale ka Kyengera Nabaziza Daily Market, Livingstone Ssekabira, yakunze abantu bonna okubukeereza enkokola babeewo mu bungi basobole okwaniriza Bukedde n’okufuna omukisa okwanja ebizibu byabwe byonna ku mikutu gya Bukedde ggaggadde egituuka buli wamu.

Tags: