Abagwere balonze Ikumbania omupya, ttiyagaasi anyoose. Ebifaananyi 8

Mutabani w’omugenzi Ikumbania wa Bugwere, Geoffrey Wayabire alondebwa ku bwa Ikumbania bwa Bugwere nga tavuganyiziddwa oluvannyuma lw’abantu abalala babiri ababadde mu lwokaano okubivaako.

Ikumbania omupya Geoffrey Wayabire (waggulu ku mmotoka) ng’ajaganya n'abawagizi be. Ebif. Donald Kirya.
By Donald Kiirya
Journalists @New Vision
#Abagwere #balonze #Ikumbania

Bya Donald Kiirya, Budaka

Mutabani w’omugenzi Ikumbania wa Bugwere, Geoffrey Wayabire alondebwa ku bwa Ikumbania bwa Bugwere nga tavuganyiziddwa oluvannyuma lw’abantu abalala babiri ababadde mu lwokaano okubivaako.

Era Ssentebe w’akakiiko akakola ku byobuwangwa (Cultural Council), Tom Mbulamberi ye yalangiridde Wayabire ku bwa Ikumbania bwe babadde ku kitebe ky’akakiiko akulira okulonda mu Bugwere ku Lwokuna era bw’atyo n’amukuutira okugatta Abagwere n’Obugwere okutwaliza awamu.

Mbulamberi yategeezezza nti abantu ababiri abaavudde mu lwokaano kwabaddeko; Asuman Mugweri ow’ekika kya Badusuli ne Haji Ahamad Mugooda ow’ekika kya Bamito Banyoro.

Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu Bugwere, Lawrence Magoola yategeezezza nti emitendera gy’okulonda Ikumbania omupya gy’atandika mu 2021 oluvannyuma lwa eyali Ikumbania John Chrysostom Wayabire okufa obulwadde bwa COVID-19 era Bugwere ebadde terina Ikumbania okutuusa bwe balonze owookubiri. 

Magoola yakuutidde Ikumbania omuggya okwongera okuwanika bendera ya Bugwere waggulu n’okugatta Abagwere nga kitaawe bwe yakolanga nga tannafa.

Ikumbania omupya, Geoffrey Wayabire ategeezezza nti agenda kutandikirawo okugatta abantu b’e Bugwere era ne yeebaza Katonda olw’ekisa kye, ekimusobozesa okulondebwa ku bwa Ikumbania era n’asaba abaavudde mu lwokaano okumwegattako bakulaakulanye Bugwere.

Geoffrey Wayabire (wakati Ne Bendera Ya Bugwere) Ng’ajaganya N'abawagizi Be Oluvanyuma Lw'okumulonda Ku Bwa Ikumbania Bwa Bugwere.

Geoffrey Wayabire (wakati Ne Bendera Ya Bugwere) Ng’ajaganya N'abawagizi Be Oluvanyuma Lw'okumulonda Ku Bwa Ikumbania Bwa Bugwere.

Ssentebe Wa Cultural Council Ya Bugwere Tom Mbulamberi (ku Kkono) Ng’ Alangirira Geoffrey Wayabire (ku Ddyo) Ku Bwa Ikumbania Bwa Bugwere E Budaka Ku Lwokuna

Ssentebe Wa Cultural Council Ya Bugwere Tom Mbulamberi (ku Kkono) Ng’ Alangirira Geoffrey Wayabire (ku Ddyo) Ku Bwa Ikumbania Bwa Bugwere E Budaka Ku Lwokuna

Poliisi Ng'eyita Ku Bantu Okwelula Ekkubo Bwe Yabadde Tennaba Kukuba Ttiyagaasi Mu Bantu Okubagumbulula Mu Luguudo

Poliisi Ng'eyita Ku Bantu Okwelula Ekkubo Bwe Yabadde Tennaba Kukuba Ttiyagaasi Mu Bantu Okubagumbulula Mu Luguudo

Ikumbania Omupya Geoffrey Wayabire (waggulu Ku Mmotoka) Ng’ Ajaganya N'abawagizi Be Oluvannyuma Lw'okumulonda Ku Bwa Ikumbania Bwa Bugwere.

Ikumbania Omupya Geoffrey Wayabire (waggulu Ku Mmotoka) Ng’ Ajaganya N'abawagizi Be Oluvannyuma Lw'okumulonda Ku Bwa Ikumbania Bwa Bugwere.

Nnamungi W'omuntu Eyeeyiye Mu Luguudo Wakati Olwa Mbale  Iganga Nga Bajaganya.

Nnamungi W'omuntu Eyeeyiye Mu Luguudo Wakati Olwa Mbale Iganga Nga Bajaganya.

Abaserikale Ba Poliisi Abagugumbudde Abantu Mu Luguudo Wakati Ne Ttiyagaasi Okusobozesa Mmotoka Okuyita.

Abaserikale Ba Poliisi Abagugumbudde Abantu Mu Luguudo Wakati Ne Ttiyagaasi Okusobozesa Mmotoka Okuyita.

Abantu Nga Badduka Ekibambulira Kya Ttiyagaasi Eyabadde Akubwa Okubagumbulula Okuva Mu Luguudo Wakati.

Abantu Nga Badduka Ekibambulira Kya Ttiyagaasi Eyabadde Akubwa Okubagumbulula Okuva Mu Luguudo Wakati.

Bbo abaavudde mu lwokaano okubadde Mugweri ne Hajji Mugooda beeyamye okwewala obukyayi era baakukolagana ne Ikumbania omuggya Wayabire okukulaakulanya abantu baabwe awamu n’okussa mu nkola Pulogulaamu za gavumenti eziganyulwa abantu n’okubaggya mu bwavu.

Poliisi ekuba ttiyagaasi

Oluvannyuma lw’okulangirirwa ku bwa Ikumbania, Wayabire yeegasse ku bawagizi be ne bayisa ekivvulu mu luguudo wakati oluva e Mbale okulaga e Tirinyi kyokka abawagizi babadde bangi ne baziba oluguudo nga mmotoka tezirina weziyita.

Era wano abaserikale abakakkanya obujagalalo bakubye mu bawagizi ttiyagaasi okubagumbulula okuva mu luguudo wakati okusobozesa mmotoka ezibadde zeesibye nga tezitambula, okuddamu okutambula.

Oluvannyuma Ikumbania Wayabire avugiddwa mu mmotoka eya Super Custom okutuuka mu lubiri e Budaka gy’atudde n’olukiiko lwa Bugwere ne balonda Sipiika w’olukiiko ssaako ne kkanso ye.