Abayizi ba yunivasite bajjukiziddwa obutazannyisa misomo gyabwe

ABAYIZI ba yunivasite baweereddwa amagezi okukozesa obulungi omukisa gwe bafunye okusoma nga y'engeri yokka eyinza okubayamba okukyusa embeera y'ebitundu gye basibuka.

Mu Kkanzi ye Ikumbania wa Bugwere Geofrey Weyabire ow'okubiri bwe yabadde kuyYunivasite e Makerere ng'abayizi Abagwere bakyusa obukulembeze bwabwe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#yunivasite #bayizi #misomo

Bya James Magala

ABAYIZI ba yunivasite baweereddwa amagezi okukozesa obulungi omukisa gwe bafunye okusoma nga y'engeri yokka eyinza okubayamba okukyusa embeera y'ebitundu gye basibuka.

Entanda eno, abavubuka ebasibiriddwa Ikumbania wa Bugwere H.H Geoffrey Weyabire owookubiri bw'abadde yeetabye ku mukolo abayizi Abagwere abeegattira mu kibiina ki Makerere University Bagwere Students Association kwe bakyusirizza obukulembeze bwabwe n'abajjukiza nti ng'abavubuka abafunye omukisa okusomera e Makerere bateekwa okumanya nti be bakutte omumuli gw'okululaakunya Bugwere.

Ikumbania agambye nti okusoma y'ensibuko y'enkulaakulana eyannamaddala n'awa ekyokulabirako nti ebitundu bingi naddala mu masoso g'ebyalo byetaaga abakozi mu ofiisi za gavumenti nti kyokka eky'ennaku abamu ku baana enzaalwa tebalina buyigirize, ekiviirako emirimu emitono egiba gizze okuweebwa abantu abava ebweru w'ekitundu.

Akubirizza abavubuka abava e Bugwere obutazannyisa kusoma kubanga basobola okufuuka abantu ab'omugaso mu maaso.

Ono yeeyamye nti nga obwa Ikumbania, baakwongera okussa amaanyi mu by'enjigiriza okulabanga omuwendo gw'abavubuka abasomye beeyongera mu bitundu ebyo n'ategeeza nti y'engeri gye bayinza okwekolera ku bizibu ebisoomoza ekitundu kyabwe omuli: ebyobulamu, ebbula ly'emirimu mu bavubuka n'ebirala.

Wabula Ikumbania Weyabire, asiimye abakulembeze b'abayizi Abagwere olw'obutatiirira buwangwa bwabwe, n'asaba abavubuka yonna gyebali okusoosowazanga obuwangwa bwabwe n'ategeeza nti omuntu amanyi obuwangwa bwe tayinza kulemwa nsi eno olw'ensonga nti obuwangwa bulambika bulungi omuntu ow'obuvunaanyizibwa bw'asaanidde okweyisa mu bantu.

Eno abakulembeze b'Abayizi Abagwere abakadde nga bakulembeddwaamu abadde ssentebe waabwe Mudecha Aramathan, baasimye Ikumbania olw'okubalungamyanga obulungi n'oluvannyuma ne bawaayo obuyinza eri olukiiko oluggya olwabadidde mu bigere okukulemberwa Nale Wycliff.

Bo abakulembeze abaggya nga bakulembeddwa Wycliff Nale, bakumbye ebirayiro ne beeyama okuweereza obulungi.