KKOOTI y’e Mbale esaze omusango gwa bakulu b’ebika bya Bugwere gwe baawawaabira Balamu Pagholi nga bamuvunaana okweyita Ikumbania wa Bugwere ate nga teyalondebwa mu mateeka ne mu nnono za Bugwere. Bagamba nti yeerangirira n’atandika okweyita omukulembeze w’ennono mu Bugwere.
Omusango gwatwalibwa mu kkooti nga ssaabawandiisi w’obwa Ikumbania bwa Bugwere, Tom Mbulamberi, Fred Kamugo, Sebbe Twaha ne Muwereza Gastasi Musugu baawawaabira Mubbala Balamu Pagholi nga basaba kkooti emuyimirize okweyita Ikumbania wa Bugwere ne Mbulambago Robert Mutono abadde yeeyita ssentebe wa Bugwere Culture and Elders council.
Ikumbania Wa Bugwere Geoffrey Wayabire Ng’ayogera Eri Abagwere.
Mu nsala ya kkooti eyasomeddwa omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti, Robert Mukanza, yategeezezza nga kkooti bwe yayimirizza mbagirawo Mubbala Balamu Pagholi abadde yeeyita Ikumbania wa Bugwere n’emulagira okukikomya ne Mbulambago Robert Mutono obutaddamu kweyita ssentebe wa Bugwere Culture and Elders council.
Mu kiwandiiko ekirabiddwaako Bukedde, kkooti eragidde eyalondebwa Geoffrey Wayabire okusigala nga ye Ikumbania wa Bugwere omujjuvu kubanga yalondebwa abakulu b’ebika era y’asaanye okukulembera Abagwere oluvannyuma lw’okuyita mu mitendera.
Era asabye gavumenti obutatongoza muntu mulala yenna
okuggyako eyalondebwa mu mateeka ne mu nnono za Bugwere.