Lwaki Gavumenti ekendeezezza abakuuma abakulembeze b'ennono

EGGYE lya UPDF lirangiridde enteekateeka z’okukendeeza ku muwendo gw’abaserikale abakuuma abakulembeze ab’ennono okuli n’abakuumi ba SsaabasajjaKabaka ab’ekibinja ekya Kabaka Protection Unit.

Omukulembeze w’Abagwere Geoffrey Wayabire (ku ddyo), katikkiro we Moses Mauku nga babuuza Col. James Kato Kalyebara ne Maj. David Obadiah Ngobi (ku kkono) oluvannyuma lw’olukiiko olwatudde e Kayunga.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EGGYE lya UPDF lirangiridde enteekateeka z’okukendeeza ku muwendo gw’abaserikale abakuuma abakulembeze ab’ennono okuli n’abakuumi ba Ssaabasajja
Kabaka ab’ekibinja ekya Kabaka Protection Unit.
Akulira ekibinja ekikuuma abakulembereze ab’ennono mu ggye lya UPDF (Director Royal Guards), Col. James Kato Kalyebara yagambye nti omuwendo gw’abajaasi
abakuuma abakulembeze b’ennono kyasaliddwaawo gukendeezebwe olw’ensonga ezenjawulo.
Col. Kalyebara yannyonnyodde nti mu bitundu ebimu babadde bangi ekisusse ate awalala abakulembeze abamu bakyusa obuvunaanyizibwa bw’abaserikale ne babasindika okulunda ebisolo byabwe oba okubasindika okukuuma ensuku, ennimiro oba ffaamu zaabwe so nga babasindika kubawa bukuumi.
Ebigambo bino byakkaatiriziddwa omwogezi wa UPDF, Felix Kulaigye eyategeezezza Bukedde nti Kalyebara bye yayogedde bituufu kubanga waliwo abaserikale abasindikibwa okukuuma kyokka be babawadde ne babakozesa birala.
Kalyebara okuvaayo okulangirira bino tekigudde bugwi, ensonda zaategeezezza nti mu bbanga lya myaka ng’esatu abaserikale abakuuma Kabaka omuwendo guzze gukendeezebwa. Ekiseera ekyasooka baaleetanga abaserikale nga bava mu masaza ga
Buganda 18 nga bamanyi ebikwata ku Bwakabaka kyokka bagenze baggyibwamu ne bateekamu abava mu bitundu by’eggwanga ebirala.
AMAGYE GAWADDE ENSONGA
Mu nteekateeka eno, nti omuwendo gw’abaserikale mu ggwanga tegumala kyokka abamu ku bakulembeze b’ennono abaserikale abaabaweebwa babakozesa emirimu egitakwatagana na gyabasindisaayo abalala babazza mu kulwana entalo zaabwe ez’obuntu. Kulaigye ng’ayanukula ku ky’abaserikale abaggyibwawo, yategeezezza Bukedde nti abamu baakyusiddwa bukyusibwa nga bajja kuleeta abalala abanadda mu
bigere byabwe kyokka n’akikkaatiriza nti abalala baakendeezeddwa nga Col. Kalyebara bwe yategeezezza.
Yagambye ntu abaserikaleabamu bwe balwa mu kifo bayiga emize egy’enjawulo kye bava babaggyawo ne babatwala okuddamu okutendekebwa bababangule okwongera okufuna obukugu.
Ekiseera kino abaserikale abakuuma Kabaka bakulirwa Maj. Stanley Musaazi kyokka abalala ababadde ku ggye eryo okwali; Musoke, Birimuye n’abalala bwe, baatwalibwa okuddamu okutendekebwa tebaakomezebwawo.
Kulaigye yagambye nti enteekateeka y’okutandika okukendeeza ku muwendo gw’abaserikale egenda kufulumizibwa mu bujjuvu, bw’atandika okulambulula mu kiseera kino abeera atandise okujjula ebitannaba kuggya.
UPDF ESISINKANA ABAKULEMBEZE AB’ENNONO
Kalyebara okulangirira enteekateeka eno, yabadde ku Katikomu Hotel e Kayunga wiiki
ewedde ng’asisinkanye abamu ku bakulembeze b’ensikirano n’abategeeza nti UPDF egenze okwetegereza nga waliwo abakuumi abateetaagisa era abakozesebwa obubi.
l Yanokoddeyo nti waliwo abajaasi abaasindikibwa okukuuma omukulembeze kyokka
ne bafundikira ng’abasindise kukuuma lusuku lwa katikkiro we okumala emyaka esatu. Omulala ye yali katikkiro w’Abagwere, ekifo yakivaamu kyokka abadde akyalina abajaasi ng’abakozesa kutiisatiisa bantu n’okubakuba era abo babiri yabamuggyeko.
l Olukiiko mwe yayogeredde bino lwetabiddwaamu abakulembeze ab’ennono okuli; Geoffrey Wayabire ow’Abagwere, Ssaabanyala Bakar Kimeze, David Ngobi Obadiah, Micheal Agondua ow’ balugwala , Emolot Emorimor owa Teso. Abalala baakiikiriddwa bakatikkiro baabwe.
l Yagambye nti ekyennyamiza abakulembeze abamu bafuula abaserikale bano ng’abaana b’awaka era tebeewuunya nga bazadde mu behhanda zaabwe abali awaka ate ekyewuunyisa bakyala b’abakulu bano olumu bagaana okukyusa abaserikale abamu kubanga babakozesa okubega babbaabwe eyogye batambulira naddala mu bikolwa by’obwenzi.
l Abamu baddira abakuumi be baabawa ne babapangisa mikwano gyabwe okubawerekera ku mikolo, okuwerekera abehhanda zaabwe nga batambulira mu
butaala n’obugombe.
l Ekyewuunyisa abamu babatwala okubakuuma kyokka bwe batuuka ku bijjulo olwo abajaasi babaleka bweru ne basiiba ng’enjala ebakalanga kyokka baagala babakuume.
MMENGO EYANUKUDDE
Minisita w’amawulire era  omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yategeezezza Bukeddenti ensonga ezo ziri mu mikono gya UPDF kyokka ebyokwerinda nga bwe biri kyetaago eri buli omu, Buganda erina ebifo bingi ebyetaaga obukuumi bwe butalina
mu kiseera kino.
Nga bali mu lukuhhaana Kalyebara gye yalangiriridde eby’okukendeeza omuwendo
gw’abaserikale, omukulembeze w’ Abagwere Geoffrey Wayabire yeebazizza olw’okuvaayo n’enteekateeka enong’agamba nti eyali katikkiro we abadde akozesa abaserikale abo okutiisatiisa abantube.
Michael Agondua ow’Abalugwala yeemulugunyizza nti mu kitundu kye
mulimu bannabyabufuzi abagenda bakunga abantu okumujeemera n’okubeeyisizaako mu ngeri etawa kitiibwa. Ssaabanyala Bakar Kimeze yalaajanidde gavumenti nti
ebawe obuyinza abakulembeze b’ensikirano bonna babeere nga benkana kubanga waliwo a abatwalibwa ng’abasukkulumye ennyo ku balala.