Bino bibadde Kamwokya mu lukung'aana lw’abava mu bitundu eby’enjawulo eby’obuvanjula bw’eggwanga omuli; Abasoga, Abagwere, Abanyoli, Abagisu n’abalala n’ekigendererwa eky’okusala amagezi ku ngeri gye basobola okuyambaganamu okulaba nga beekulaakulanya mu by’omwoyo n’omubiri.
Omuyima w’ekibiina kino ate nga ye yabadde omugenyi omukulu, Rev. Fr. John of God Masaaba yagambye nti ekintu ekiremesa Bannayuganda okukulaakulana bwe buteeyambisa bulungi bibiina ebibagatta olwo buli omu n’akola ku lulwe enkulaakulana n’ekaluba.
Wano we basiimidde abaategese olukung'aana lw’abantu abava e mu Buvanjuba kye yagambye nti kigenda kubayamba okuwang'ana amagezi ku nsonga ez’enjawulo ezigenda okubayamba okukulaakulana.
Ono yabasabye okwongera okwenyigira mu mirimu egibakulaakulanya basobole okutumbula ebitundu gye babeera ate n’okwenyigira mu nkulaakulana mu bitundu by’ebyalo gye basibuka.
Ssentebe w'ekibiina kino, Moses Samuka yasabye bammemba okwewala entalo n’okwekotoggera wabula bafube okukolera awamu lwe bajja okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe.