Vine Culinary and hospitality School yaakukiikirira Uganda mu mpaka z’okufumba mu Buyindi
Omuyizi Magezi Chriscent n’omusomesa we Chef Sheila Ahabwe okuva ku essomero ly’okufumba erya Vine Culinary &hospitality School mu Kigoowa e Ntinda, bagenda kukiikirira Uganda mu mpaka z’okufumba ez’ensi yonna.
Zino zigenda okuyindira mu ggwanga lya Buyindi (India) wiiki ejja. Magezi ne Ahabwe basitula ku Lwokuna. Bagenda kuttunka n’abayizi okuva mu mawanga agasoba mu 50.
Empaka zino eziyitibwa ‘International Young Chef Olympiad (YCO) 2026’ zibeerayo buli mwaka nga zeetabwamu abayizi abasoma eby’okufumba. Boolesa obukugu, obuyiiya n’obumanyirivu mu kuteekateeka, okufumba n’okugabula emmere okuva mu mawanga ag’enjawulo.
Ku luno, bagenda kwolesa emmere eraga obuwangwa bwabwe, obuyonjo mu ffumbiro n’obukugu mu kukekkereza emmere n’erema okwonoonebwa.
“Guno gwe mulundi ogusoose essomero ly’omutendera ogwawansi mu Uganda okulondebwa okukiikirira eggwanga,” Chef Sheila bw’agamba.
Empaka zigenda kuggulibwawo n’omukolo ggaggadde ku Ssande eno nga February 1, 2026 olwo gukomekkerezebwe nga February 6, 2026.
Abayizi bagenda kusunsulwamu mu mitendera egyenjawulo nga kino kigenda kukolebwa abalamuzi era nga bafumbi abakuukutikivu mu nsi yonna. Zigenda kubeera mu bibuga bya Buyindi mukaaga okuli; Bengaluru, Delhi, Pune, Hyderabad ne Goa. Olwo gukomekkerezebwe mu Kolkata abawanguzi gye bajja okuweebwa engule okuli n’eya ‘YCO 2026 Golden Toque’.
Chef Sheila agamba nti empaka zino zigendereddwaamu okutumbula obumu n’obuwangwa mu mawanga ag’enjawulo nga bayita mu mmere kubanga emmere nayo eringa lulimi olugatta abantu.
Mu ngeri y’emu, empaka era ziyamba okuzuula abafumbi abato ab’amaanyi mu nsi yonna. Ne Uganda egenda kwolesa amaanyi g’erina mu by’okuteekateeka emmere ey’omulembe okuyita mu Vine Culinary &Hospitality school.