EKIGAMBO “Mmotoka enywa woyiro” kisinga kuwulikika mu ba bbulooka abatunda mmotoka naddala enkadde, abagoba ba takisi n’ebidduka ebisaabaza ebyamaguzi.
Mu mbeera eyabulijjo yingini ya mmotoka okutambula erina okuba ng’enywa woyiro wabula enjawulo aba mu bungi bw’eba ekozesezza .
Faisal Kabali nga mukugu mu bya yingini agamba nti okukendeera kwa woyiro wa yingini mu mbeera etali ya bulijjo kiva ku bintu bya njawulo.
Okufaananako n’ebyuma bya mmotoka ebirala , yingini bwekola okumala ekiseera nayo enafuwa nga kitegeeza nti n’ebyuma byayo ebyomunda omuli lingi eziba ku pisitoni zigwerera nga ziba nga ziyisa woyiro nekiviirako mmotoka okufuuwa omukka.
Woyiro okuba ng’alina waayita n’atonnya mu bintu bya yingini eby’enjawulo ng’ono omulabira ne ku kubabirira kwa yingini kungulu .
Okukozesa ekika kya woyiro omukyamu omuli okuba nga muwewufu nga mubisenge bya yingini ayalitamu mangu oba nga muzito nnyo nga tatambula bulungi mu yingini.
Envuga embi eya mmotoka nayo eyinza okuviirako obuzibu ku woyiro naddala obutakyusa ggiya mu budde, okulinnya omuliro ekisukkiridde n’embeera endala.
Wabula Kabali nagamba nti kya bulabe okwongera woyiro omupya ku mukadde kimuviirako okwekutakutala munda mu yingini, .