Emboozi

By'olina okwekebejja ssinga mmotoka ewunya amafuta

BULI kidduka kirina ttanka egendamu amafuta agagitambuza ne sisitimu mwegatambulira nga singa biba biramu bulungi kizibu amafuta okuwunya.

By'olina okwekebejja ssinga mmotoka ewunya amafuta
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

BULI kidduka kirina tanka egendamu amafuta agagitambuza ne sisitimu mwegatambulira nga singa biba biramu bulungi kizibu amafuta okuwunya.

 

Ssinga oba mu mmotoka n’owulira amafuta nga gawunya kitegeeza waliwo ebyuma ebiba bifunye obuzibu.

 

Kino kya bulabe nnyo singa oba tokyanguyidde ku kitereezza .
Gerald Kyabagu makanika agamba nti embeera evaako amafuta okuwunya eyinza okuvaako ekidduka okukwata omuliro .


Mu mbeera eno olina okukebeera ku Pulaaga, Pulaaga omulimu gwazo kwokya mafuta singa zikaddiwa zisobola okuviirako ekidduka okuwunyisa amafuta oba olina okufuna amakanika okutereeza ekizibu ekyo kuba kisoboola okuviirako ekidduka okukwata omuliro Buli kidduka kirina enseke oba empiira ezitambuza amafuta.

 

Singa ekimu ku bino kifuna akatuli amafuta gatandika okutonnya bwotayanguwa okugenda mu galagi ekidduka kifuna emize egitali gimu n’etandika okwongera ku mafuta g’ekibadde kikozesa.

 

Ate mu kutonnya gayinza okuvaako muliro Mmotoka bweba ewunyisa amafuta kitegeezza galina we gatonnya kino kyongera ku bungi bw’amafuta g’okozesa kuba gaba tegatuuka gonna mu yingini mmotoka etandiina n’okupipira n’esala amaanyi.

Tags:
Mafuta
Kuwunya
Kwekebejja