Emboozi

Abatunda mmotoka bazikyusizza endabika ne tekinologiya

ABAKOZI b’ebidduka ba­bikyusizza mu ndabika ne tekinologiya nga kino kyavudde ku bukwakkukizo obwassib­waawo mu mateeka g’ensi yonna okukendeeza ku bungi bwa mmotoka ezikozesa amafuta okudda ku z’amasannyalaze (Electric Vehicles) ssaako ezo ezigatta amasannyalaze n’amafu­ta (Hybrid). 

Abatunda mmotoka bazikyusizza endabika ne tekinologiya
By: Samuel Balagadde, Journalists @New Vision

ABAKOZI b’ebidduka ba­bikyusizza mu ndabika ne tekinologiya nga kino kyavudde ku bukwakkukizo obwassib­waawo mu mateeka g’ensi yonna okukendeeza ku bungi bwa mmotoka ezikozesa amafuta okudda ku z’amasannyalaze (Electric Vehicles) ssaako ezo ezigatta amasannyalaze n’amafu­ta (Hybrid).

Charles Kamunvi, Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga ekya Associated Motor Dealers agam­ba nti, amateeka g’ensi yonna ku bidduka gatunuulira eky’ob­ulamu bw’abantu abazitambu­liramu n’obutonde bw’ensi nga kino kikoze kinene mu kukyusa ebidduka.

Mmotoka ez’ebbeeyi ezimanyiddwa omuli; Toyota Land Cruiser, Range Rover, Mer­cedes Benz, BMW, Audi n’ebirala nga kw’ogasse n’eza bulijjo eza bamufunampola omuli; Subaru Forester, Toyota Corolla, Honda, Mazda n’ebirala byakyusizza endabika mu mwaka 2026.

Francis Kanakulya, nga mu­suubuzi wa mmotoka mu Kam­pala agamba nti, omwaka gwa 2025 we guggwereddeko nga mmotoka ez’emyaka egy’okumpi okuva nga 2017 okudda waggulu zeeyongedde ettunzi.

Agamba nti, kino kivudde ku ngassi ey’ebitundu 50 ku 100 ku ssente mmotoka z’eba ebalirid­dwaamu nga tennawa musolo (Custom value) ku bidduka ebikadde.

Tags:
Mmotoka
Agafa ku bidduka
Benzi
Ndabika
Tekinologiya