Emboozi

Poliisi eyigga agambibwa okuzza emisango n'adduka ku kyalo e Kibuli

POLIISI y'e  Kabowa eyigga omusajja eyali omukozi wa bbanka emu oluvannyuma lw’okugobwa ku kyalo ku misango egy’enjawulo.

Poliisi eyigga agambibwa okuzza emisango n'adduka ku kyalo e Kibuli
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI y'e  Kabowa eyigga omusajja eyali omukozi wa bbanka emu oluvannyuma lw’okugobwa ku kyalo ku misango egy’enjawulo.

Henry Musika y'awenjebwa Poliisi nga ne gye buli eno tamanyiddwaako mayitire. Kyokka kigambibwa nti Henry Musika  yali yakwatibwa Poliisi y'e Kabowa era n'aggalirwa ku misango gy'amawemukirano ku Ref. no 14/27/03/2023 wadde nga yeeyimirirwa n'alagirwa okuddayo 05/06/2023 kyokka okuva ku olwo yafuuka musu gw'e Kanyanya nga ne ku kyalo gye yali awangaalira ekisangibwa e Kibuli  aba LC 1 wamu n’abatuuze baamugobayo olw’obusiiwuufu bw’empisa.

Okusinziira ku bbaluwa ya LC1 Kibuli B zooni, nga yassibwako omukono ssentebe w’ekyalo eraga nti olukiiko lw’ekyalo olwetabwamu n’abakulembeze b’eddiini lwasalawo ono agobwe ku kyalo n’okuwerebwa obutaddamu kulinnya mu ssinzizo lyonna omuli ekkanisa, Klezia n'emizikiti olw’empisa ze ezitali za buntubulamu.

Wabula mu kiseera kimu Poliisi ekyamunoonya era esaba amulabyeko yenna abatemyeko akwatibwe avunaanibwe.

Tags: