Emboozi

Abantu baatandise dda okwenyigira mu keetalo ka ssekukkulu

Akeetalo ka ssekukkulu katandise na maanyi era abantu baatandise dda okweyiwa mu bifo eby'enjawulo awatundibwa ebya ssava okwefunira ku bya ssekukkulu.

Ssennabulya ng'ali ku mudaala gwe e Wankulukuku
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Akeetalo ka ssekukkulu katandise na maanyi era abantu baatandise dda okweyiwa mu bifo eby'enjawulo awatundibwa ebya ssava okwefunira ku bya ssekukkulu.

Abantu nga bagula ebintu

Abantu nga bagula ebintu

Ku mudaala gwa Ibra Star Irish Depot e Wankululuku okuliraana ekisaawe, nga gwe gumu ku gusinga obunene mu Lubaga era abasinga baguyita katale, kyakutte dda ng'enjogera y'ennaku zino bweri.

Ibra Ssennabulya ng'ali ku mudaala gwe ogwa Lumonde

Ibra Ssennabulya ng'ali ku mudaala gwe ogwa Lumonde


Abantu beesomboola okwegulira ebya ssekukkulua omuli n'abakungu abapaakinga emmotoka zaabwe okugula ebyassava anti buli ekyetaagisa awaka okuviira ddala ku; bummonde, ebibala, enva endiirwa, emmere, Amanda, enkoko, enyama n'ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo byonna weebiri, era bwoba ne ssente zo buli kyetwetaaga okukozesa awaka ovaawo nakyo.

Abantu nga bagula ebibala

Abantu nga bagula ebibala

Ibra Ssenabulya, omutandisi w'omudaala  guno agambye nti abantu bajjumbidde okugula eby'olunaku era kati  bakola okuva ku makya ppaka kumakya, basula bakola. 
Neyeebaza ba kasitoomaabe okumuwagira.
Agamba omudaala yaagujjuza buli kimu weekiri, kasitooma olujja buli kyetaagisa avaawo nakyo.
Agamba akozesa Abakozi abasukka mu 70 my mudaala gw'e era agukoze kinene okuwa abavubuka b'ekitundu emirimu naddala abayizi kati abali ku luwummjla bajja nebakola wano nebawona okutayaaya mu kitundu.

Abantu nga bagula ebintu ku mudaala gwa Ssennabulya ewa Wankulukuku

Abantu nga bagula ebintu ku mudaala gwa Ssennabulya ewa Wankulukuku


Yeebazizza Naalinnya Sarah Kagere olw'okumuwa omukisa naakolera mu kifo kino okwelulaakulanya ng'omuvubuka n'okukulaakulanya bavubuka banne.
Nabaagaliza ennaku enkulu ennungi ezijjudde emikisa gya Katonda
Tags: