Aba Yunivasite ya ISBAT bavuddeyo ne batangaaza ku ngambo ezibungeesebwa ku mikutu emigatta bantu, nga Univasite bwegenda okusengulwa essaawa yonna.
Mu lukiiko lwa bannamawulire lwebatuuzizza ku univasite eno, ku kitebe kyayo ekikulu ku luguudo lwa Lugogo by-pass, amyuka cansala wa Univasite eno Pulof. Mathew Kattampackal asambazze ebiwandiikibwa ku mikutu emigatta bantu nga ISBAT bwegenda okusengulwa ku ttaka.

Vice Chancellor pulof Mathew Kattampackal
N’ategeeza nti, ekifo webali baakigula kyabwe ate tekiriiko nkaayana yonna, ababungeesa engambo bandiba nga baliko ebyabwe byebenoonyeza ng’abantu, abaagala okutataaganya erinnya lyabwe ne ba kasitooma baabwe.
N’agumya abazadde n’abayzi obutaba na kutya kwonna, kubanag teriiyo nkaayana zonna ku kifo webatudde, kyabwe bwoya.
Looya wa univasitye eno Tonny Tumukunde agambye nti, amawulire ago agabuzaabuza abantu ku mikutu emigatta bantu, gandiba nga gabungeesebwa bannaabwe ab’ekibiina kya Misbahudin bebagugulana nabo mu nsonga z’ettaka eriri ku plot 54 Naguru drive ISBAT lyeyaagula, nebayita emabega nebalyekiikamu nga baagala okulitwala, era ensonga nezigenda mu kkooti zeezikyali leero.
Wabula engambo zino weezijjidde, nga waaliwo emisango bannaabwe aba Misbahudin gyebaatwala mu kkooti ku kibanja ky’e Naguru egyagobeddwa, nga kyandiba nga kati banaabwe beebatandiseewo obubadi obwo okuteekawo amawulire g’obulimba bateeke ba kasitooma baabwe ku bunkenke.

looya wa ISBAT Tonny Tumukunde
Atanagaazizza nti ettaka lya univasite ya ISBAT okuli enkaayana lyeryo erisangibwa ku plot 54 e Naguru drive era yo tewali kintu wadde ekizimbe ttaka lyereere, ate ettaka lyabwe okuli ekitebe kya univasite ekikulu erya Polot 11A Rotary drive ku Lugogo bypass, teririiko nkayana yonna, neyewuunya ababungeesa engambo nti bagenderera kubonoonera linnya.
“Ntegeeza abazadde, abayizi ne ba kasitooma baffe bonna amazima nti, univasite tenafiirwako kyapa kya wano weetutudde era tewali nkaayana zonna, enkaayana ziri walala. Ababikola baagala kutiisatiisa” Tumukunde bwagambye.
Alabudde abakozesa emitimbagano okusasaanya amawulire g’obulimba nti, bwebatakikomya, bagenda kubaggulako emisango mu bwangu ddala.
Omwogezi wa univasite eno Patrick Rukumba, agambye nti enkaayana zebalina ku ttaka ziri ku kibanja kyabwe ekiri e Naguru ku Plot 54, ate ziri mu kkooti tebaagala kuzoogerako okutuusa nga kkooti ewadde ensala yaayo, nti naye bannaabwe abaagala okubanyagako ekibanja ekyo, bandiba nga beebali emabega w’okubungeesa engambo zino okubacankalanya.