Okulya obulungi kitaasa ku ndwadde z’omutima

9th March 2023

ABASAWO abakugu mu kujjanjaba endwadde z’omutima basisinkanye mu lukuhhaana n’ekigendererwa ky’okukubaganya ebirowoozo ku bwe bayinza okuyamba abalwadde b’emitima n’okuyiga ebipya ebikwata ku bulwadde buno.

Abakugu okuva mu nsi ez’enjawulo abeetabye mu lukuhhaana lw’abasawo b’emitima. Mu kyenvu ye, minisita Dr. Jane Ruth Aceng.
NewVision Reporter
@NewVision

ABASAWO abakugu mu kujjanjaba endwadde z’omutima basisinkanye mu lukuhhaana n’ekigendererwa ky’okukubaganya ebirowoozo ku bwe bayinza okuyamba abalwadde b’emitima n’okuyiga ebipya ebikwata ku bulwadde buno.
Dr James Kayima, okuva mu Uganda Heart Institute e Mulago era nga musomesa ku yunivasite e Makerere annyonnyola nti, luno lwe lukuhhaana olw’omulundi ogwomunaana era nga lubeerawo buli mwaka n’ekigendererwa eky’okugezaako okuyiga ebipya ebikwata ku ndwadde z’omutima, biki ba kalimagezi bye banoonyerezaako n’okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okuyamba abalwadde.
Gwetabiddwaako n’abakugu okuva mu nsi ez’enjawulo omuli Amerika, Nigeria, Kenya, Tanzania, Rwanda n’endala.
Dr Kayima agamba nti, abantu bangi balina endwadde z’omutima naye nga tebamanyi ekibaleetera okukeerewa okufuna obujjanjabi ekibeera ekizibu okubajjanjaba.
Minisita w’ebyobulamu, Dr Jane Ruth Aceng yategeezezza nti, ku lukalu lwa Afirika, omuntu omu ku buli bantu bana be bali mu bulabe bw’okufuna endwadde z’omutima, so nga bana ku buli 100 balina obulwadde bwa sukaali era nga n’omuwendo gw’abantu abalina omugejjo gweyongede naddala mu bakyala.
“Ndi musanyufu okubategeeza nti, kati tulina obukugu n’obusobozi obwetaagisa okukebera n’okujjanjaba endwadde z’omutima ebitundu 95 ku buli 100 mu bantu abakulu oba ebitundu 85 ku buli 100 mu baana abato abalina endwadde z’omutima,” Dr Aceng bw’atyo bw’agamba.
Dr Aceng yasinzidde mu lukuhhaana luno okusiima abasawo abatadde ettoffaali eddene mu by’obujjanjabi bw’endwadde z’omutima mu ggwanga okuli, Dr Ephraim Batambuze n’abalala.
Dr John Omagino, akulira eddwaaliro ly’omutima erya Uganda Heart Institute agamba nti, ku bantu abafa, 25 ku buli 100 bafa ndwadde ezeekuusa ku bulwadde bw’omutima.
“Naye we tutuuse, essira tulina kuliteeka ku kwekuuma okulaba nga tetukwatibwa ndwadde za mutima kubanga obulwadde buno busobola okwewalika ebitundu 80 ku buli 100” bw’agamba.
Akubiriza abasawo okwongera okuyigiriza abantu okwejjanjaba nga balya bulungi kibasobozese okwewala omugejjo, okwewala amasavu n’okukola dduyiro obutafuna ndwadde za mutima

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.