YING. Kharim Kibuuka akulira eby’okwekebejja ebidduka (Inspector of Motor Vehicles –IOV) mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula alaze obulabe bwa ggaadi ezissibwa ku mmotoka n’agamba nti bagenda kuziwera okuteekebwa ku mmotoka.
Yategeezezza nti tewali assaako ggaadi n’ekigendererwa eky’okutaasa obulamu bw’abantu singa wabaawo akabenje, wabula okutaasa mmotoka zaabwe okukosebwa. Emmotoka zituuka wano nga tekuli ggaadi bannannyinizo ne bazissaako.
Ssinga wabaawo akabenje beesanze ng’omuntu yandiwonye naye olwa ggaadi weesa nga afudde.
Baasazeewo ggaadi ziggyibwe ku bidduka okutaasa obulamu bw’abatambula ku kkubo n’aba bodaboda.
Mu mitendera ng’ogusooka omuntu yenna bw’anaatwala ekidduka okukyekebejja bagenda kumulagira eziggyeko era aweebwe ebbaluwa mu butongole emulagira okuziggyako era esigale ku mukutu ogugabanibwa ebitongole eby’enjawulo nga ne poliisi kweri olwo omulundi okuddako mu kwekebejja ekidduka bwekiba tezaggyiddwaako mmotoka eba teyisibwa