YINGINI y’emmotoka okwonooneka oluusi kiva ku bulagajjavu bwa ddeeeva nga tafaayo kwetegereza kidduka kye okukkakkana ng’ekubye embeera ekwetaagisa ssente ennyingi emmotoka okuddamu okutambula.
Kasimu Ssemwogere nga makanika wa mmotoka ku Sham Auto galagi e Mengo agamba nti ebimu ku baddereeva bye bagayaalirira mulimu;
1. Siiru z’oku yingini singa zitandika okuyiwa woyiro notoofaayo kuzikyusa, emmotoka esobola okukuba yingini.

Yingini Y'emmotoka Nga Bw'efaanana.
2. Emmotoka bw’etandika okwaka akataala ka woyiro mu kisaawa ne kalwako kiba kitegeeza ‘oil pump’ enafuye. Noolwekyo olina okugikyusa. Singa tokikola yingini efa. Ate ku mmotoka za Diesel singa akataala ka ‘timing belt’ kaaka n’otofaayo kukyusa lukoba eyonoona Cylinder Head ekiddako yingini kwesiba.
3. Bannannyini mmotoka abamu tebafaayo kukebeera ku mazzi ga mu ladiyeeta. Singa tegabaamu mu mmotoka eccamuka n’eyonoona ‘Cylinder Head’ ne faani ekiddirira mmotoka kufa yingini.
4. Singa olaba akataala ka ‘check engine’ mu kisaawa ky’emmotoka nga kaase n’otofaayo kugitwala mu galagi kuzuula buzibu webuli kisobola okutta yingini.
5. Air Cleaner bw’ekaddiwa ereetera emmotoka okutandika okunywa woyiro bw’otofaayo kugikyusa, yingini eyinza okufa.
6. Emmotoka ya ‘automatic’ bw’olwawo okugikyusa woyiro wa ggiya bookisi eyokya kulaaki. Ekiddako ggiya bookisi kufa. Wano yingini etandika okwesiba oba olumu okulwawo okukyusa ggiya ate mmotoka za ‘Manual’ bw’olwawo okukyusa CC, etta ggiya bookisi y’emmotoka n’etandika okwesiba.
7. Okulwawo okukola saaviisi emmotoka ogizaaza emize egiyinza okuleetera yingini okufa.
8. Okukozesa amafuta g’ebidomola nakyo kikyamu. Gano olumu gaggyibwa mu mmotoka nga gakozeeko nga galimu ebicaafu ebitta yingini.
9. Okunywa amafuta kubuli ssundiro ly’osanze. Kyandibadde kirungi okukozesa kkampuni yamafuta emu. Amafuta ebiseera ebisinga si gegamu era ekyo kisobola okutta yingini yo. Ssemwogere agamba nti kyandibadde kirungi okufunayo makanika gwe weesiga kubanga era bamakanika nabo basobola okwonoona emmotoka yo. Okukyusakyusa bamakanika ebiseera ebisinga sikirungi kuba oyo gwoba ogitwalidde aba tagimanyi nga oli eyagisookamu.