Kkampuni n’ebitongole byebugira mwoleso gwa Vision Group ogwa Harvest Money

15th January 2024

KKAMPUNI ezitunda ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu kulunda n’okulima kw’ossa ebitongole bya gavumenti n’ebyobwannannyini bitandise okwebugira omwoleso gwa BUKEDDE ogwa Harvest Money Expo.

Abalimi nga bali ku mudaala gwa NAADS basomesebwa ensimba y’ebitooke mu mwoleso gw’omwaka oguwedde.
NewVision Reporter
@NewVision

KKAMPUNI ezitunda ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu kulunda n’okulima kw’ossa ebitongole bya gavumenti n’ebyobwannannyini bitandise okwebugira omwoleso gwa BUKEDDE ogwa Harvest Money Expo.
Omwoleso ogw’omwaka guno gwakubeerawo okutandika ku Lwokutaano nga February, 23 okutuuka ku Ssande nga February 25, mu kisaawe e Kololo nga kkampuni ezitunda emmere y’ensolo ezikulembeddwa aba Tunga Nutrition abakola akalungo ka Hendrix, ensigo, ebisolo, eddagala, ebigimusa n’ebirala byonna zitandise okwekwata emidaala okwolesa.
Joshua Kato omukuhhaanya w’akatabo ka Harvest Money akafulumira mu lupapula lwa New Vision agamba nti, kkampuni nga ezo n’endala ezitunda n’okusomesa ebya tekinologiya okuli eza tulakita abakulembeddwa aba Engineering Solutions, ez’ebifukirira, ebiyumba omulimirwa, obuuma obusala omuddo, ez’amaterekero nga zikulembeddwa aba Riela Uganda okuyamba abalimi okukwata obulungi abakungula gaabwe zitandise okwekwata emidaala.
Mu ngeri y’emu n’ebitongole okuli ebya gavumenti nga bikulembeddwa ekya National Agricultural Advisory Services (NAADS), eky’enkola y’okutereka amakungula n’okukozesa lisiiti okufuna ssente nga tonnatunda (Warehouse Receipting System) n’ebirala okuli eby’ensimbi nga bbanka, ebinoonyereza nga byonna bigenda kuwa abalimi n’abalunzi amagezi ku ngeri gye basobola okwongera ku nnyingiza zaabwe okuyita mu bye bakola.
“Nga bulijjo, okuyingira kwa 10,000/- buli lunaku, ate ayagala okwetaba mu misomo egisoba mu 20 egigenda okutegekebwa ajja kusasula 10,000/- omulala. Tulina emisomo okutandika ku Lwokutaano okutuuka ku Ssande,” Kato bwe yagambye.
Ayongerako nti, nga bwe gwali omwaka oguwedde, omwaka guno waliwo omusomo gw’abaana nga guno gugenda kusomesebwamu abayizi b’essomero lya siniya ku gamu ageetaba mu kisaakaate ky’amasomero ku bulimi n’obulunzi (Schools Farm Camp) ekitegekebwa ku ssomero lya Gayaza girls.
Dr. Samuel Ssewagudde, akulira Tunga Nutrition abakola akalungo ka Hendrix ne kasaasaanyizibwa Champrisa International agamba nti, nga bwe baatandise okukolera kuno akalungo kaabwe, abaneetaba mu mwoleso guno balina omukisa okubaako bingi bye bayiga n’okumanya ku kalungo kaabwe n’okumanya engeri omulunzi gy’akekkereza emmere olwo akole amagoba.
William Awora, akulira RIELA Uganda, agamba nti ng’abalimi ba Uganda bafiirwa ebitundu 30 ku 100 eby’amakungula, kkampuni ye, ya kwolesa ebyagi eby’enjawulo ebisobola okukozesebwa okutereka amakungula mu bunene obw’enjawulo.
Kato akubiriza kkampuni n’ebitongole ebirina bizinensi ezitambulira mu bulimi n’obulunzi okwekwata emidaala nga bukyali okusobola okufuna ku mukisa gw’abantu abasoba mu 30,000 abayingira mu mwoleso guno okusobola okugaziya akatale.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.