Endabirira ya ‘steering pump’ eneekwanguyiza ng’ovuga

OMUGOBA w’ekidduka yenna alina okulabirira obulungi ‘steering pump’ y’emmotoka kubanga singa takikola kiyinza okuvaako emmotoka okulemererwa okukola obulungi omulimu gwayo naddala ng’avuga.

Endabirira ya ‘steering pump’ eneekwanguyiza ng’ovuga
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Emboozi #Kuvuga #Steering pump #Ndabirira #Pump

OMUGOBA w’ekidduka yenna alina okulabirira obulungi ‘steering pump’ y’emmotoka kubanga singa takikola kiyinza okuvaako emmotoka okulemererwa okukola obulungi omulimu gwayo naddala ng’avuga.

Ddereeva Ng'avuga

Ddereeva Ng'avuga

Abas Nsubuga, makanika ku S.G Garage e Luzira, agamba nti, omugaso omukulu ogwa ‘steering pump’ gwa kuyambako kugonza siteering’ y’emmotoka okwanguyiza omugoba waayo okugiweta n’ekola ky’ayagala nga takaluubiriziddwa.

 

‘Steering pump’ oluusi eyitibwa ‘amasang’anzira ga siteeringi’ kubanga eno y’entabiro y’okukola kwa siteeringi. Eno eriko olupiira olugiyunga ku A.C era singa olupiira luno lukutuka awo siteeringi etandika okukaluba.

 

Munda mu yo mulimu ebyuma ebiringa obukomo ebipika ‘Hydraulic’ ateekebwamu nga bino biyambako okuwa siteeringi amaanyi n’egonda nga ky’ogiragira ky’ekola.

Steering Pump Bw'efaanana.

Steering Pump Bw'efaanana.

Hydraulic ono abeera munda atera kubeera wa langi ya kyenvu ate omulala nga mumyufu nga ono ayambako nnyo okugonza siteeringi.

 

Kw’olabira nti, ‘steering pump’ etandise okufa, ebeera tekyasobola kukuba ‘Hydraulic’ okumutuusa mu byuma ebirala nga ky’oba olina okukola kwongeramu Hydraulic.

 

Steering pump bw’efa tegaana mmotoka kutambula lwakuba kibeera kya bulabe okugivuga kubanga obeera tosobola kugiweta bulungi nga kino kisobola okuvaako akabenje nga siteeringi ekaluba.