EBBULA ly’ensimbi, okwagala okukekkereza ekisukkiridde n’obutamanya kivuddeko bangi ku b’ebidduka okugwa mu nsobi naddala nga bagezaako okuyiiyiriza ebyuma bya ‘suspension’ ebifunye obuzibu mu kifo ky’okugula ebirala.
Joseph Lwanga, makanika wa mmotoka mu Ndeeba, agamba nti, ‘suspension’ ya mmotoka erimu ebintu ebikulu nga bitaano nga byonna bikolaganira wamu okusobola okutuukiriza omulimu gwazo.
‘Suspension’ biba byuma bya mmotoka mu maaso nga bikolera wamu. Ebimu ku byuma bino mulimu:
l Sekabuzooba: Zino ziyamba mmotoka butakosebwa mu binnya oba mu ngeri endala era nga zirina kubeera nnamu nga zikokera wamu ne ssepulingi okuziyambako okuwanirira obuzito bw’emmotoka.
l Obukono bwa mmotoka :
Buno buyunga ebyuma bya ‘suspension’ ebirala ku kidduka.Buno nabwo buteekwa okuba nga bulamu wadde ng’abamu bwe bukaddiwa nga butandise okukubagana babuggyamu ne babutwala mu byuma ebibunyiga ne butereera. Wabula kino kya bulabe kuba kiyinza okuvaako okusowokayo nga mmotoka eri ku misinde n’ekiddirira kabenje.
l Omutayimbwa omuwanvu ogukwata emipiira oba amagulu ga mmotoka abiri mu maaso : Guno gusinga kuyamba nga emmotoka eweta ne gugikuumira wamu.
l Obukondo obuyunga ku bukono bwa mmotoka (Ball joints) ku wansinziira siteeringi ya mmotoka (Steering knuckles).
l Ebipiira bya labba (rubber bushes) : Bino biyambako okukendeeza ku kukubagana kw’ebyuma by’emmotoka eby’enjawulo ng’etambula.