Akeezimbira : Entabula ya seminti esaanidde mu musenyu

Ebipimo bya seminti mu musenyu ogw’enkokoto bikyukamu okusinziira ku nnyumba eba ezimbibwa

Akeezimbira : Entabula ya seminti esaanidde mu musenyu
By Kizito Musoke
Journalists @New Vision
#Emboozi #Ntabula #Seminti

Yinginiya Ssekibuule agamba nti ebipimo ebituufu byandibadde akasawo kamu aka seminti mu ggaali ssatu ez’omusenyu okukola ekintu ekigumu naddala mu nnyumba ez’amaanyi nga kalina. 

 

Wabula ku nnyumba eza bulijjo ezisulwamu, osobola okutabula eggaali nnya oba ttaano mu kasawo kamu aka seminti.

 

Ebipimo bya seminti mu musenyu ogw’enkokoto bikyukamu okusinziira ku nnyumba eba ezimbibwa, okugeza bw’oba ozimba kalina oba ebisenge ebizizika ettaka (Retaining walls) tukozesa ekipimo kya nsawo emu eya seminti ne tugattako eggaali emu ey’omusenyu awo ne tugattako eggaali bbiri ez’amayinja ( 1:1:2), eno ye grade 30 esinga obugumu.