Emboozi

Engeri gy’otereeza emmotoka egudde ku kabenje n’erabika bulungi

EMMOTOKA ng’efunye akabenje eyinza okugooma n’okufufunyala nga kino kivaako bannannyini yo okugivaako nga balowooza nti, tesobola kutereezebwa.

Engeri gy’otereeza emmotoka egudde ku kabenje n’erabika bulungi
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

EMMOTOKA ng’efunye akabenje eyinza okugooma n’okufufunyala nga kino kivaako bannannyini yo okugivaako nga balowooza nti, tesobola kutereezebwa.

 

Yusuf Lubwama, nga makanika e Luzira agamba nti, nga tonnawaayo kidduka nti, tekikyasobola kudda ku luguudo olina okwebuuza ku bakugu mu kuzigolola.

 

Balina amagezi ge basobola okusalira ekidduka kyonna nga emmotoka ebeera egoomye ne bagigolola n’eddawo.

Mmotoka Egongobadde Olwa Kabenje

Mmotoka Egongobadde Olwa Kabenje

Agamba nti, emmotoka bw’eba egoomye naddala mu bitundu eby’omu maaso ekisookera ddala okwekenneenyezebwa ku bw’ebeera efaananye.

 

Emmotoka ezimu zifuna obubenje naye ne zisigaza bboneti nga nnamu, kyokka ng’ebimu ku bitundu munda wa bboneti byonoonese, okugeza nga ffuleemu, kye tukola kwe kuggyawo ekyonoonese olwo ne twokezaawo ekipya.

 

Kyokka singa ebitundu nga ffuleemu bibeera byagoomye bugoomi, bino bisobola okugololwa ekidduka ne kiddamu okutereera.

 

Naye bwe weesanga nga mu kabenje bboneti nayo eyonoonese nnyo era nga bwe tugezaako okugigolola tejja kulabika bulungi ku mmotoka, esumululwako ne bazzaako endala.

 

Kino kikolebwa bwekiti kubanga ebyuma by’emmotoka byonna byakolebwa nga biyungibwa buyungibwa nga singa ekimu kyonooneka okiggyako n’ozzaako ekirala n’otosuula kidduka kyo.

 

Emmotoka bwegooma ne bagigolola, basooka ne bagiteekako kye bayita ‘Fyber’ olwo ne bazzaako ‘body filler’.

 

‘Fyber’ y’asooka ku bbode egoloddwa kubanga ayambako okukwata pulasitiika wa bbode y’emmotoka okuba nga teyatikayatika nnyo.

 

Kyokka ate ye ‘Filler’ ayambako okubuza enkovu ezibeera zazze ku kidduka. Oluvannyuma bateekako ppati ng’ono ayambako okuweweeza olususu lw’emmotoka n’ebeera nga tekalabula.

 

Bwe bamaliriza okutereeza olususu lw’emmotoka, bazzaako langi okusinziira ku mmotoka bw’efaanana olwo ekidduka ne kidda buggya.

 

Mu kugolola emmotoka ebeera egoomye, tukozesa ebyuma okuli; jjeeke, magalo ne ggaasi kubanga waliwo ebbaati we lituuka nga lyagala kubugumyako nga tonnalisala.

 

Lubwama awabudde abantu abalina emmotoka ezaakola obubenje obutazisuula wabula basooke beebuuze ku bakugu mu mulimu guno okwewala okufiirwa.


Emmotoka ng’ogitereezezza bw’oba waakugitunda ogifunamu ssente eziwera okusinga bwe wandigitunze nga sikulaapu. Ate osobola okusigala ng’ogikozesa.

Tags:
Agafa ku bidduka
Mmotoka
Kabenje
Kufufunyala