Amawulire

‘Yaaya yakuba omwana wange ekiti ku mutwe n’okumufumita ebiso n’amutta’

Mu November wa 2022, Yaaya Fayirose Nsumbatala ow’emyaka 14, yatemula omwana wa mukamaawe omukyala Joy Bridget Amari, Messiah Jonathan Barrack ow’emyezi 10,  ng’agamba nti, nnyina w’omwana yali asusse okumutulugunya.

Omwana Messiah eyatemulwa yaaya bwe yali afaanana. Wano yali ne nnyina Joy Amari ng’akyali mulamu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Mu November wa 2022, Yaaya Fayirose Nsumbatala ow’emyaka 14, yatemula omwana wa mukamaawe omukyala Joy Bridget Amari, Messiah Jonathan Barrack ow’emyezi 10,  ng’agamba nti, nnyina w’omwana yali asusse okumutulugunya.

Nsumbatala, yategeeza abaserikale ba poliisi y’e Katwe abaamukwata nti, mukamaawe omukyala akola obwa asikaali mu kkampuni y’obwannanyini emu, bwe yali aludde ng’amuliisa akakanja, naye obusungu kwe kusalawo abumalire ku mwana.

Yamukuba ekiti ku mutwe, n’okumufumita ebiso mu bulago ebyamutta. Olwamala okukola obutemu buno, yaddukira ewa mukamaawe omukyala (nyina w’omwana) ku muliraano we yali akola ogw’obukuumi, n’amutegeeza nga bw’abadde agenze okugula amanda n’asanga ng’omwana bamusaze obulago n’afa.

Yalaga abaserikale engeri bgye yatemulamu omwana, n’okubalaga akambe ke yakozesa okumusala obulago, nga yali yakakweka mu nnyumba mwennyini ekiraga nga ekikolwa
kino yakyetegekera okumala akaseera.

Yategeeza nti, yali akooye okukola obwayaaya kyokka nga bamwesibyeko era nga ne bwatoloka bamukwata ne bamuzza.

Ne ku lunaku lwe yatemula omwana, yali asazeewo adduke addeyo ewaabwe, wabula mukama we omukazi n’amusanga mu kkubo ng’agenda n’amukomyawo awaka mbu alabirire omwana we.

Kino kye kyamucankalanya obwongo, n’ategeeza nti, yasalawo aggyewo omwana gwe baali baagala alabirire kubanga ye yali amulemesezza okuvaawo okudda ewaabwe.

NKYEBUUZA OMWANA OMUTO GYE YAGGYA OMUTIMA OGUTEMULA

Joy Bridget Amari, maama w’omwana, yali ku mulimu gy’akola ng’omukuumi okumpi ne w’asula, omukozi we Nsumbatala gw’alekera omwana awaka n’ajja ng’akaaba n’amutegeeza nga mutabani we bwe bamusse.

Yadduka okutuuka awaka, n’asanga nga mutabani we agaηηalamye mu kitaba ky’omusaayi ku buliri, agamba nti: Ndi mukuumi naye amaanyi ganzigwaamu ne mpunga, nga nteebereza omuntu asse omwana wange ky’annanze nga sikimanyi, nga sisobola na kukirowoozaako nti, yali mukozi wange nakati nkyebuuza omwana omuto ati gye yaggya omutima ogutemula, kyannema okutegeera.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yategeeza nti, wadde Nsumbatala yalina emyaka 14 ng’abalibwa ng’omwana omuto, nti naye avunaanibwa bulungi mu mateeka omusango gw’ettemu, Ssemateeka akkiriza
okuvunaana omuntu w’emyaka 14 kuba aba ategeera nga ky’akoze akimanyi bulungi nti, kibi.

Tags: