POLIISI e Kanungu eri mu kuyigga omuvubuka agambibwa okufumita omwana ow'emyaka 16 ekiso n'amutta.
Attiddwa, ye Darius Tukamushaba 16 omutuuze w'e Kakoni cell mu muluka gw'e Nyarugunda mu Ggombolola y'e Kambuga e Kanungu, bwe bafunye obutakaanya ne munne ategeerekese nga Mugisha.
Ettemu, libadde ku bbaala ya Kasingire mu kabuga k'e Omukashansha e Kakoni , nti Mugisha bw'ayise Tukamushaba wabweru gy'agambibwa okumufumitira ekiso n'afiira mu ddwaaliro lya Kambuga hospital .
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Elly Maate, agambye nti bali mu kuyigga omusajja ono era nga banne b'omugenzi okuli Yeremia Tayebwa ne Pakarasio Niwasiima bamaze okugibwako sitatimenti