Amawulire

Abasuubuzi mu katale ku mabanda e Matugga baloopedde RDC abantu abaatunda akatale kaabwe

ABASUUBUZI mu katale ka mabanda daily market e Matugga baloopedde RDC wa Wakiso Justine Mbabazi enyiike gyebayitamu oluvannyuma lwa bamu ku bakulembeze baabwe okukozesa olukujjukujju ne batunda akatale kaabwe ne bamusaba abayambe okununula ettaka lyabwe kuba balyegulira.

Abasuubuzi nga baloopera RDC ebibasoomooza
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision
ABASUUBUZI mu katale ka mabanda daily market e Matugga baloopedde RDC wa Wakiso Justine Mbabazi enyiike gyebayitamu oluvannyuma lwa bamu ku bakulembeze baabwe okukozesa olukujjukujju ne batunda akatale kaabwe ne bamusaba abayambe okununula ettaka lyabwe kuba balyegulira.
 
Bano abakulembeddwamu Richard Bbule omu ku basubuuzi mu katale kano babadde Munsisinkano ku katale kaabwe ne RDC ssaako abakulembeeze abalala ne bategeeza nga bwebasula mu bwelalikirivu okuva lwebategezeddwa nga abamu ku bakulembeeze babwe okuli Asiimwe Benon,Jamiru Nduga,Musisi George na balala bakozesa olukujjukujju ne bakyuusa ekyappa kya katale kabwe oluvanyuma ne bakatunda awatali kusooka kwebuuza ku basubuuzi. 
Abasuubuzi nga baloopa ebibasoomoza

Abasuubuzi nga baloopa ebibasoomoza

Wano RDC wa wakiso Justine Mbabazi weyasinzidde n'alagira poliisi okukwata bonna abakozesa olukujjukujju ne batunda ettaka lino nagumya abasubuuzi nti akatale kali mu mikono gyabwe era baleme kutisibwa.
 
Ye RDC wa Nansana charles Lwanga ategeezezza abasubuuzi nga obuyinza bwebuli mu mikono gyabwe era nga abakulembeeze bayimirira wamu na batuuze nasaba pulezidenti azimbire Abasubuuzi bano akatale ako mulembe na bakutiira okwetanira pulojekiti za gavumenti omuli PDM okusobola okwongera okubakulakulanya.
Tags: